TOP

KCCA erabudde Kitatta yeesonyiwe ebya takisi

Added 4th February 2017

KCCA erabudde Kitatta yeesonyiwe ebya takisi

 Abdallah Kitatta

Abdallah Kitatta

EKITONGOLE kya KCCA kirabudde aba takisi mu Kampala obutagezaako kuwubisibwa muntu yenna nti y’ali emabega w’okutegeka okulonda kw’abakulembeze ba takisi okunaabeerawo mu March.

“KCCA y’eddukanya omulimu gwa takisi mu Kampala era y’erina okukola ku nteekateeka y’okutegeka okulondesa era ndabula baddereeva ne bakondakita ba takisi obutawuliriza Abuddalah Kitatta eyagambye nti y’ali mu nteekateeka y’okulonda kwa takisi”, omumyuka w’omwogezi wa KCCA Robert Kalumba bwe yategeezezza.

KCCA okuvaayo kiddiridde Kitatta okutuuza olukiiko lwa bannamawulire e Nateete ku ofiisi z’ekibiina kye ekya National Union of Drivers, Cyclist and Allied Workers’ n’alangirira nti bategeka okulonda abakulembeze abanaddukanya omulimu gwa takisi mu Kampala era bagenda kutandika okubawandiika.

Kalumba yagambye nti KCCA emaze enteekateeka z’okulondesa aba takisi era kugenda kubeerawo nga March 20, 2017 era nga bagenda kukolagana n’akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga.

Mu mbeera eno n’ab’ekibiina kya ‘KOTSA’ abakulemberwa Yasin Ssematimba balabudde Kitatta nti amanye w’alina okukoma. “Ffe tukimanyi nti KCCA y’erina obuyinza ku ppaaka za takisi mu Kampala era y’erina okutegeka okulonda kuno.

Era ne Pulezidenti Museveni bwe yatusisinkana ffenna n’abo abaali bakaayanira omulimu gwaffe n’alabula Kitatta n’ebibiina ebirala bireke KCCA etegeke okulondesa kuno”, Ssematimba bwe yategeezezza.

Mu ngeri y’emu Ssematimba yalabudde abagagga abagula poloti ku ppaaka enkadde be balaba nga bakukuta ne KCCA obutagezaako kulinnya kigere ku ppaaka zaabwe nti baagala okuzimba.

Kyokka Kalumba yategeezezza nti KCCA yateesa n’abaagula poloti mu ppaaka era bakkiriziganya okuzza liizi zaabwe obuggya. Yagumizza aba takisi nti ekibangirizi kya ppaaka ekyasigalawo bagenda kukibazimbiramu ppaaka ey’omulembe nga ya kalina.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...