TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Budaaki eneesomesa abalimi enfukirira y'ebirime eyomulembe

Budaaki eneesomesa abalimi enfukirira y'ebirime eyomulembe

Added 6th February 2017

Budaaki eneesomesa abalimi enfukirira y’ebirime eyomulembe

 Kabushenga, agamba amazzi ye zzaabu w’omulimi.

Kabushenga, agamba amazzi ye zzaabu w’omulimi.

EKITEBE kya Budaaki mu Uganda kinaasomesa abalimi ku ngeri y’okufukiriramu ebirime okutandika n’Olwokuna lwa wiiki eno. Engeri abalimi gye bakoseddwa ekyeya, okufukirira ebirime lye limu ku makubo aganabbulula omulimi.

Abalimi bagenda kusomesebwa mu bibinja okwefaananyirizaako abayizi abali mu kibiina, basobole okumanya kalonda yenna gwe bateekeddwa okukozesa nga bafukirira.

Omusomo ogusooka gwakubeera Kapchorwa ku nnimiro ya Joel Cherop ku Lwokuna nga February 9, 2017. Cherop y’omu ku balimi abaasinga mu mpaka z’omulimi asinga eza 2014 ezitegekebwa kkampuni ya Vision Group.

Omusomo ogwokubiri gwakubaawo nga February 10, 2017 ate emisomo eginaddako gyakubaaawo nga February 14, mu disitulikiti ye Luweero ne Wakiso ku nnimiro ya Robert Kabushenga akulira Vision Group.

Kabushenga alina olusuku n’omusiri gw’emmwaanyi eby’omulembe. “Tulabye okusoomoozebwa eggwanga lye kuyiseemu olw’enkuba ebadde tetonnya.

Ng’ekitebe kya Budaaki tusazeewo okusomesa abalimi basobole okwongera okubanguka ku mugaso gw’okulima n’okulunda nga bafukirira,” Hans Peter Van der Woulde, amyuka akulira ekitebe kya Budaaki bwe yagambye.

Bwino okuva mu minisitule y’ebyobulimi alaga nti omulimi omu yekka ku 100 mu Uganda ye yeeyambisa okufukirira ebirime ng’alima.

Abalimi 99 ku buli 100 bayimiriddewo ku nkuba. Kino kireetedde abalimi okufiirwa ennyo mu myaka ebiri egiyise. Anno Galema, avunaanyizibwa ku by’emmere ku kitebe kya Budaaki yategeezezza nti emisomo gino gigendereddwaamu okuyigiriza abalimi okufukirira n’okubalaga tekinologiya gwe balina okwettanira.

Buli musomo gusuubirwa okwetabwamu abalimi abali wakati wa 50 ne 100. Abalimi baakusomesebwa ku bwereere. Wajja kubaawo n’abatunda ebyuma by’okufukirira eby’omulembe okuva mu Budaaki.

Abakugu mu by’okusima n’okutereka amazzi bajja kubeerawo babangule abantu ku ngeri y’okusimamu ttanka ne nayikondo. Galema yagambye nti omusomo gwakukwata ku bintu omuli ebika by’amazzi ag’enjawulo agava ku migga, ge balembeka awamu n’agaggyibwa mu nnyanja.

Abalimi baakuyiga engeri gye beekenneenya amazzi ne bamanya agasaanidde n’amakyamu okukozesa. Robert Kabushenga, owa Vision Group yagambye nti gye bujja tewali mulimi ajja kusobola kumalako okuggyako nga yeeyambisizza okufukirira.

“Amazzi zzaabu ku nnimiro. Bw’oba ogalina tewali nsonga lwaki weesiba ku nkuba.” Yagasseeko nti eno y’ensonga lwaki Vision Group yasazeewo okuwagira emisomo gy’okufukirira ebirime mu ngeri y’omulembe.

Ekitebe kya Budaaki baludde nga bakolagana ne kkampuni ya Vision Group, dfcu/Rabobank ne KLM bwe bategeka empaka z’omulimi asinga buli mwaka.

Abalimi 10 ababeera basinze bazze batwalibwa e Budaaki ne beeyongera okukuguka mu bulimi n’obulunzi awamu n’okuweebwa ssente z’okwongera okwekulaakulanya. Abalimi abaasinga mu mpaka z’omulimi asinga eza 2016, baakulangirirwa nga February 17, 2017. (Wammanga y’engeri emisomo ku kufukirira gye gitegekeddwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...