TOP

'Taata yansobyako n'anfunyisa oluboto'

Added 7th February 2017

OMUVUZI wa takisi akwatiddwa poliisi lwa kusobya ku muwala we n’amufunyisa olubuto.

 Omuwala gwe baafunyisizza olubuto. Ku ddyo ye Taata Abdul Kaweesi ng'ali ku Poliisi

Omuwala gwe baafunyisizza olubuto. Ku ddyo ye Taata Abdul Kaweesi ng'ali ku Poliisi

Abdul Kaweesi 47, ow’e Najjanankumbi mu Quater Zooni ye yakwatiddwa poliisi y’e Katwe nga kigambibwa nti yasobezza ku muwala we ow’emyaka 16 n’amufunyisa olubuto.

Omuwala yategeezezza nti kitaawe yamusobyako omwaka oguwedde ng’olubuto luweza emyezi mukaaga.

“Omulundi ogwasooka taata yansaba okumuwerekerako n’antwala mu loogi n’ankolako eby’ensonyi bwe yamala n’ampa 20,000/- era n’addamu n’ankola ekintu kye kimu era n’ampa ssente ze zimu.

Bwe nnamubuuza lwaki azimpa yanziramu nti y’amanyi”, bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti bwe yamugambye nti alina olubuto yamukubye emiggo n’amugamba nti bwe wabaawo amubuuza nnyini lubuto amugambe nti lwa mukwano gwe Ivan ng’alina n’okumunoonya gy’ali.

Nga wayisseewo ebbanga yantwala mu ddwaaliro n’alagira abasawo banzigyemu olubuto kyokka nagenze okulaba nga lukula bukuzi”. N’agamba nti awaka baamugobawo kwe kusalawo okuddukira ku poliisi.

Kaweesi bwe yakwatiddwa yeegaanyi ebyogerwa muwala we nti yamufunyisa olubuto n’agamba nti tayinza kukola kikolwa kino.

Yagambye nti nnyina w’omwana ono ayitibwa Harriet Nabbosa eyamumusuulira ng’alina emyezi ena gyokka alabika yali emabega w’okumusiga enziro.

Yagambye nti yatuukirira kitaawe wa Ivan ne bakkaanya n’amuwa ssente basobole okuggyamu olubuto era kye kyamutwaza mu ddwaaliro.

Akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi y’e Katwe, Fred Eriku yagambye nti Kaweesi yagguddwaako omusango gw’okusobya ku mwana ku fayiro nnamba SD11/04/02/2017 ng’okunonyereza bwe kugenda mu maaso.

Ne maama w’omuwala baamukutte abayambeko mu kunoonyereza kwabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...