TOP

"Bannayuganda muyige Oluchina"-Mukugu

Added 9th February 2017

Kituufu Oluzungu lujja kusigala nga lwe lusinga okwogerwa mu nsi naye okumanya Oluchina kijja kubayamba’’ kakensa w’ebyenfuna by’e China

 David Dollar

David Dollar

Bya Muwanga Kakooza

KAKENSA mu byenfuna Dr. David Dollar awadde Bannayuganda amagezi okutandika okuyiga okwogera Oluchina ng’agamba nti lujja kubayamba  okuganyulwa ennyo mu nkolagana ya Uganda ne China ekute akati naddala mu by’ensubulagana n’ebyamakkolero ensangi zino.  

Oluchina lulimi luzibu  naye Bannayuganda naddala abayizi basobola okuluyiga. Uganda esobola n’okuwereza abayizi ku yunivasite z’e China ne baluyiga.  

Kituufu Oluzungu lujja kusigala nga lwe lusinga okwogerwa mu nsi naye okumanya Oluchina kijja kubayamba’’ kakensa w’ebyenfuna by’e China Dr. Dollar bwe yagambye ng’ayanukula abawadde amagezi olulimi luno lussibwe ku nnimi ezisomesebwa mu masomero ga Uganda agasinga obungi.        

Yabadde ayogerera mu musomo ogukwata ku ngeri Uganda gy’esobola okufuna mu nkulakulana ya China ogwabadde mu Golf Course Hotel mu Kampala ogwategekeddwa bbanka enkulu. Era gwetabiddwamu ne gavana wa bbanka eno Tumusiime Mutebile.           

Kyokka Dollar alabudde Uganda obuteesiba nnyo ku bya kwewola ssente kuva mu mawanga gaakula ng’erowooza nti mw’ejja okuyita okwekulakulanya.

N’agamba nti China yayita mu kukekereza n’okutereka ku ssente abantu ze bafuna wamu n’okukolagana n’amakkampuni g’amawanga amanene okukola bizinensi sso ssi kwewola n’esobola okulakulana.            

Dollar, Omumerica eyakolako mu bbanka y’ensi yonna yategeezezza Uganda esanidde esseewo embeera esobozesa Abachina ne banaggagga okwongera okutandika wano emirimu nga muno mulimu okulwanyisa enguzi,okukendeeza ku bbeeyi y’amasanyalaze.  

Era n’agamba nti Uganda erina okulaba ng’enfuna mu kuvuganya okuliwo wakati w’amawanga g’Abazungu ne China ku ky’okuleeta mu Africa ensimbi.            

Yagambye nti amakkampuni g’Abazungu agaagala okwenyigira mu by’okusima amafuta ga Uganda basaanidde okukolaga ne kkampuni z’Abachina.  

N’agamba nti Abachina balina ssente ng’ate amakkampuni g’Abazungu balina tekinologiya n’olwekyo bwe bakwatagana basobola okufuna mu bizinensi ezitali zimu ezikolebwa mu Uganda.            

Ng’ayanukula ebigambibwa nti ebintu ebikolebwa e China ebiretebwa mu Uganda biri ku mutindo mubi, Dollar yagambye nti okwemulugunya kuno yakuwuliddeko.  

Kyokka n’agamba nti kiri eri Bannayuganda okulemerako okulaba ng’omutindo gw’ebiretebwa guli waggulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...