TOP

Avuga Van y'essomero asobezza ku wa P 1

Added 12th February 2017

Avuga Van y'essomero asobezza ku wa P 1

 Musa Matovu agambibwa okusobya ku mwana nga bamutwala ku poliisi.

Musa Matovu agambibwa okusobya ku mwana nga bamutwala ku poliisi.

ABASERIKALE baggyeeyo emmundu mu kukwata ddereeva agambibwa okusobya ku mwana wa P.1 eyabadde atambulidde mu bbaasi ng’adda awaka.

Bakubye amasasi mu bbanga nga bagezaako okukukunula Musa Matovu mu ssomero lya Mild Care Parents e Munyonyo gye yabadde yeekukumye. Abatuuze abaabadde abanyiivu, baakubye Matovu era poliisi n’erwanagana nabo baleme kumutta, n’emulinnyisa kabangali okumuggyawo n’aggalirwa mu kaduukulu e Katwe.

Matovu ddereeva wa mmotoka esomba abayizi era kino kye yakozesezza okusobya ku kaana akawala akasoma P.1 (amannya galekeddwa) mu Mild Care Parents e Munyonyo. Akawala kano ka myaka 5 gyokka!

Abatuuze abamanyi Matovu obwedda banyeenya mitwe, nga beewuunya omusajja omufumbo alina n’abaana ate bw’atuuka okusobya ku kaana akato! Matovu ne mukaziwe babeera Salaama mu Kiruddu Zooni e Makindye.

ENGERI GYE YASOBEZZA KU MWANA

Bazadde b’omwana emitima gyasoose kubeewanika nga balaba obudde buzibye, wabula ng’omwana waabwe tatuuka waka! Nga bateekateeka okugenda ku ssomero okuzuula ekyatuuseewo, akaana kaatuusiddwa awaka kyokka nga kali mu maziga. Baakabuuzizza kye kabadde nga tekanyega kakaaba bukaabi; ne balowooza nti eky’okukalwisa mu kkubo kye kikanyiizizza.

Wabula mu kukanaaza, we baazuulidde nga kafunye ekizibu nga kavaamu omusaayi mu bitundu by’ekyama. Baakabuuzizza ekyakatuuseeko kwe kwogera nti Matovu ye yakasobezzaako. Kannyonnyodde nti ng’obudde buzibye, Matovu yakagambye kagende mu kasiko kakole “Short call” nti era kaabadde kaakasitama okufuuyisa, n’akava emabega n’akavumbagira n’akasobyako.

Abazadde baayanguye okutwala omwana ono mu ddwaaliro e Nsambya gy’ajjanjabirwa, era amangu ago ne bagenda ne ku poliisi e Katwe ne baggulawo omusango ku Matovu ku fayiro SD REF/07/08/02/2017.

Poliisi yatandise okuyigga Matovu okukkakkana ng’emukwatidde ku ssomero lya Mild Care gye yabadde addukidde oluvannyuma lw’okukitegeera nti anoonyezebwa. Akulira okunoonyereza ku poliisi y’e Katwe, Fred Eriku yategeezezza nti baggalidde Matovu nga bwe banoonyereza era amangu ddala ng’obujulizi bwonna bwe beetaaga babufunye, bakole entegeka ezimutwala mu kkooti avunaanibwe okusobya ku mwana omuto ennyo.

Obujulizi obutunuuliddwa mulimu obw’abazadde, omwana by’attottola, ekifo we baasoberezzaako omwana n’ebyasangiddwaawo kw’ossa lipoota y’abasawo eyakakasizza nti omwana yasobezeddwaako ne bamuyuza munda! Wabula ab’essomero lya Mild Care beegaanyi ddereeva ono nga bagamba nti muvuzi wa takisi era n’engeri gye yatuuse okusobya ku mwana w’essomero lyabwe tebaagitegedde.

Baagasseeko nti takisi gy’avuga etera okusomba abayizi b’amasomero amalala. Bazadde b’omwana babeera Salaama okuliraana siteegi ya Lwasa.

EBIBEERA MU MMOTOKA Z’ABAYIZI Emmotoka ezitambuza abayizi y’emu ku ntambula abazadde naddala mu bibuga gye batunuulira ng’eyeesigika era gye batera okukozesa, kyokka zitera okubeeramu ebizibu abazadde bye balina okumanya era bateeke amasomero ku nninga gabigonjoole.

Florence Nakanwagi omutuuzew’e Bulenga yagambye nti yalina muwala we ow’emyaka ena, kyokka lumu yamulaba ng'anywegera munne awaka bwe bali mu myaka gye gimu.

Yamubuuza gye yayigira by’akola n'amutegeeza nti babimukolera mu mmotoka ku makya ng'agenda ku ssomero. Yagenda okunoonyereza ng'emmotoka yali etuulamu abaana abakulu ddala n'abato ate nga temuli muntu wa buvunaanyizibwa ababeeramu kubaluhhamya ku bye balina okukola ne bye batalina kukola.

Yagasseeko nti abaana bayigiramu ebigambo by'obuwemu ssinga babeera tebalina muntu gwe batya abatambuliramu era bitera okumokkolwawo abalenzi abakulu abali mu bibiina ebya waggulu. Olumu baddereeva be babivuma abaana be bavuga, kyokka nga n’obwana obuto buwulira. Mmotoka nnyingi zikeera nnyo okwewala akalippagano era zitwala abaana kiro ate olumu ne zibazza kiro, ekiteeka obulamubw’abaana mu katyabaga. Abaana olumu bayita mu bifo ebikutte enzikiza okutuuka mu bifo we balindira emmotoka era ne mu kubazza, ezimu tezibatuusiza ddala waka wadde ng’obudde buzibye.

Ezimu tezibeera na bakondakita era e Wakiso, emmotoka eyaleeta abaana bwe yayimirira ku maka g’omuzadde, omwana n’avaamu; ddereeva yasimbula ng’awulidde abaana bazzizzaawo oluggi. Teyamanya nti akaana akaali kafulumye kaali kakutamye wansi w’emmotoka okulonda engatto yaako eyali esowose mu kigere, era mu kusimbula yalinnya omwana ono n’amuttirawo.

Joel Kakembo ow’e Busunju yategeezezza nti mu 2015, baafunako akabenje emmotoka bwe yasaabala abayizi abaali balinze emmotoka ebatwala ku ssomero.

Kuno kw’ogatta okutikka akabindo akavaako n’endwadde okusaasaana ennyo naddala ebifuba, ssenyiga n’endwadde z’ensusu. Bruhan Katamba ow’e Sironko yagambye nti mu 2010, waliwo ddereeva w’essomero eyeekobaana n'atunda omuyizi eyali asigadde mu mmotoka. Wano we yasabidde abakulira amasomero okussa omusomesa mu buli mmotoka, kuba tomanya bayinza okubbibwa abantu abasaddaaka abaana.

OMUKUNGU W’EBYENJIGIRIZA AWABUDDE KU MMOTOKA EZISOMBA ABAYIZI  

  1 Tonny Mukasa Lusambu, amyuka Kamisona avunaanyizibwa ku baana ba pulayimale mu minisitule y’ebyenjigiriza yagambye nti emmotoka erina okubeera ng'eri mu mbeera nnungi era omuzadde yandisoose kwetegereza mmotoka eneetambuza omwana nga tannasasula za ntambula ku ssomero.

2 Ddereeva alina okubeera ow’obuvunaanyizibwa, yasoma era ng’alina ebisaanyizo okuli ne layisinsi, alina empisa, takozesa biragalalagala, talina likodi ya kuzza musango gwonna.

3 Emmotoka erina okubeeramu omusomesa kubanga yasomesebwa engeri y’okukwatamu abaana era ono y’alina okusembayo okufuluma emmotoka ng’amaze okukakasa nti buli mwana amutuusizza mu mikono gya muzadde we.

4 Emmotoka y’essomero okukima abayizi, obudde bulina okuba nga bumaze okukya ate erina okubatuusa mu bazadde nga tebunnaziba. 5 Emmotoka terina kutikka kabindo era bw’eba takisi erina okutwala abaana 14, si kubongeramu kubanga etisse baana! Emmotoka erina okubeera ne kondakita.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba w'essaza lya Kiyinda Mityana Joseph Anthony Zziwa nga akwasa abamu ku batuuze ente omwabadde n'ab'enzikiriza ez'enjawulo. Babadde ku kigo e Mirembe Maria EKIF LUKE KAGIRI

Agabye ente 50 n'alangirira...

Essaza lya Kiyinda Mityana lirangiridde kaweefube ow'enjawulo ow'okukulaakulanya abantu mu byenfuna n’ebyobulamu...

Eyabbye enkoko bamukubye mi...

Abatuuze baamukubye emiggo wabula nga bw’alaajana ng’agamba nga bw’atali mubbi ng’enkoko baagimuwadde buwi.

Bannakawempe mukolere okweg...

MINISITA omubeezi ow'ebyensimbi n'ebibiina by'obwegassi akubirizza BannaKawempe ne Kampala Central obuteemalira...

Aba NRM balidde mu kalulu k...

E Mpigi embiranye ebadde ku kifo kya Ssentebe w’abavubuka wakati wa munna NRM, Manisoor Muluya ne Ronald Kaleebu...

Ssekandi nga y'akamala okwewandiisa.

Abavuganya Ssekandi baagala...

ABAVUGANYA omumyuka wa Pulezidenti bamutaddeko amaanyi okumusuuza ekifo ky’omubaka wa Palamenti e Masaka. Kigambibwa...