TOP

Eyatuula ebya P.7 n'ayitira waggulu talabikako

Added 13th February 2017

OMUYIZI wa Makerere Church of Uganda Primary School eyatuula P.7 omwaka oguwedde n’ayita ebigezo mu ddaala erisooka talabikako.

Angela Nakayira Patricia eyatuula P.7 mu Makerere Church of Uganda Primary School mu Kampala y’atalabikako oluvannyuma lw’okubula wadde ebibuuzo ng'ebibuuzo byakomyewo ng’ayitidde mu ddaala lyakubiri erimusobozesa okweyongerayo n’emisomo gye mu ssiniya.

Taata w’omwana, Godfrey Wamuwaya e Makerere Kavule ategeezezza nti muwala we yabula November 15 , omwaka oguwedde oluvannyuma lw’okutuula ebibuuzo bya Pulayimale era byakomyewo ayise kyokka bamunoonya okumwongerayo mu S.1 tebamanyi gy’ali.

Wamuwaya nga mutendesi w’ebyokuzimbya emibiri e Kakira mu Busoga yagambye nti omwana yabula awaka we yali abeera ne nnyina Irene Kagaye era baatuuse mu buli kifo we basuubira okumusanga kyokka nga tebamulaba.

‘’Twagendako mu mikwano gye n’atubula. Era ne tugenda ne mu kyalo nga taliiyo. Twatuukiridde poliisi ya Bugema University Branch e Makerere Kavule ne tuggulawo omusango nnamba 10/15/11/16 kyokka tewannabaawo kyamakulu kituukibwako,’’ bwe yagambye.

Yategeezezza nti amanyi amayitire g’omwana we amukubire ssimu 0759387989 oba 0782043271.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akatale k'e Tororo akawemmense obukadde 28.

Olwaleero Pulezidenti Musev...

Olwaleero Pulezidenti Museveni agguddewo akatale e Tororo akatuumidwa Tororo Central Market . Akatale kano kazimbidwa...

Abantu nga basanyukira Pulezidenti Museveni e Tororo olwaleero.

Pulezidenti Museveni bamwan...

Abawagizi ba NRM e Tororo balaze pulezidenti Museveni omukwano ,abamu balabiddwaako nga bonna beesize langi ya...

Agamu ku maka agatikkuddwaako obusolya.

Enkuba egoyezza amaka agaso...

Abatuuze b' e Kasubi mu munisipaali y'e Lubaga mu  maka agasoba mu 50 basigadde bafumbya miyagi oluvannyuma lwa...

Mugoya ng'ayozaayoza Dr. Ssengendo.

Dr. Ssengendo alayiziddwa k...

Dr. Ahmed Ssengendo  akulira yunivaasite y'e Mbale  alayiziddwa ku bumyuka bwa Ssaabawandiisi w'ekibiina  ekitwala...

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...