TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri Omuchina gye yataamye ng'engo n'attira abawala babiri mu nnyumba

Engeri Omuchina gye yataamye ng'engo n'attira abawala babiri mu nnyumba

Added 16th February 2017

Engeri Omuchina gye yataamye ng'engo n'attira abawala babiri mu nnyumba

 Aba Poliisi nga baggya ku Muchina sitetimenti

Aba Poliisi nga baggya ku Muchina sitetimenti

OMUSUUBUZI w’omu Kampala omu China avudde  mu mbeera n’awamba abawala babiri ab’e ggwanga lye n’abafumita ebiso okutuusa lwe yabasse ng’asaba bakama baabwe  basooke bamuwe ssente.

Omusajja ono atannategeerekeka manya ge matuufu  yagenda n’apangisa enju nnamba e Makerere Kikoni  mu zooni C, okumpi ne Sheron Hotel  gye yapangisizza ku Lwokusatu wiiki ewedde .

 

Omuduumizi wa poliisi mu ggwanga Gen Kale Kayihura ategeezezza nti Omuchina ono bweyapangisa enju eno ku Lwokusatu n’asasulako nannyini zo akakadde kamu n'amugamba nti amulindeko ssente ezisigaddeyo agenda kuleeta banne abakyali e China bagatte ssente bamusasule bamumaleyo kubanga enju nenne.       

Gen Kayihura  agambye nti “Poliisi erina obukakafu nti ku Lwomukaaga yapangisa omuvuzi w’emmotoka ya Sipesulo ku Chez Johnson e Nankulabye ayitibwa Fred Ssembatya n’amutwala e Kololo ku Club 7, we basanga omuwala Omuchina ayitibwa “Ran  Ju 33”  ne balinnya mmotoka ye n’abatwala mu nju eno era ku lunnaku lwe lumu yaleeta ne munne Sag Weng  Wa 34, gwe yagya ku woteeri ya Chine’s Business Hotel e Bugoloobi ku 7th street”.

    

Ayongeddeko nti amangu ddala ku Lwomukaaga lwe nnyini abooluganda lw’abawala bano bagenze ne bagulawo omusango ku poliisi ya Jinja road nga bawaaba omusango gw’okubula kw’abantu baabwe.

Era poliisi n'etemyako ekitongole kyayo ekya Flying Squad ekidduumirwa Herbert Muhangi abazudde mu kiro ekyakeesezza ku Lwokusatu ng’abawala bano babadde batiddwa mu nju eno.

Gen Kayihura agambye nti abawala bano basangiddwa nga bafumitiddwa ebiso mu bulago nga kirowoozebwa nti  engeri gye basanze obubaka ku ssimu y’omuttemu nga buaba aboluganda lw’abawala bano ssente aleme kubatta yabadde abafumita ng’abatadde ku ssimu bawulire balyoke bamuwe ssente okutuusa lwe yabasse nga tazifunye.

Akubirizza buli muntu okubeera n’eriiso ejoogi ewa mulirannwa we kubanga eno y’engeri yokka gye bandisobodde okutangira okufa kw’abawala bano kubanga mu nju eno Omuchina mweyabatidde  mubadde mu beeramu kkanisa ya balokole bwe bavamu ne muyingira omuwala omulala gwe yasoose  okusaba amuwemu ku kyaganya avve ku nju zino ze yabadde apangisiza alina ky’ayagala okumaliriza amuwe ssente        

Wadde omuwala yagaana ssente naye yakkiriza okumuviira sso nga kyali kimala omuwa ono okwekengera natemya ku poliisi nebako kyekola. Era Gen Kayihura yewunyiza Omuchina ono okugenda n’apangisa e Makerere Kikoni mu nzigoota ng’ate musiiga nsimbi.

 

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga AIGP/Andrew Felix Kaweesi yagambye nti Ssembatya bamukutte era agenda kubayambako okubuliriza.

Era n’omuchina eyasse abawala bano bamulinya kagere nga bakolagaanira wamu n’ekitebbe kya China mu Uganda kubanga bo balina tekinologye amala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...