TOP

Ekizimbe kya kkooti y'e Lwengo kirwadde!

Added 17th February 2017

Ekizimbe kya kkooti y'e Lwengo kirwadde!

 Ekizimbe kya Kkooti nga bwekifaanana ate mu katono ye ssentebe wa Disitulikiti George Mutabaazi

Ekizimbe kya Kkooti nga bwekifaanana ate mu katono ye ssentebe wa Disitulikiti George Mutabaazi

Bya Florence Tumupende

EMBEERA y'ekizimbe kya kkooti y'e Lwengo asangibwa mu kibuga ky'e Mbiriizi yeeralikiriza era bw'ojituukako nga tebakugambye nti ky'ekizimbe omutuula kkooti oyinza okulowooza nti kifulukwa.

Ekizimbe kino endabika yaakyo yennyamiza olw'ebituli ebikijjudde wabweru ssaako n'ebintu ebirimu munda omuli entebe y'omulamuzi eyasensebuka  edda ebituli olw'okulumwa emmese ssaako n'ebiwuka ebirala ebyewalula.

 

Embeera eno essa nnyo abasirikale b'amakomera mu kaseera akazibu olw'okubulwa webassa abasiba ababa baleeteddwa mu kkooti olw'ebituli ebiri buli wamu nga babeera ku bwerinde olw'okutya abasibe okuyita mu bituli ne badduka.

Ebifo ebikyamirwaamu bisiiba biggale ate kazambi asaasanyizibwa okumpi ne kkooti nga kino kitadde abantu abaliraanyeewo mu mbeera enzibu ey'okweraliikirira obulwadde.

 

SENTEBE WA DISITULIKITI AYOGEDDE.

Sentebe wa disitulikiti y'e Lwengo  George Mutabaazi agumiza abantu b'e Lwengo nti babeere bagumu olw'ensonga nti ebizibu ebiruma abantu bikyali bingi ate nga n'eno ekkooti mweri naye ejja kukolebwako.

Mutabaazi agambye nti wadde nga Disitulikiti ekyali mukaweefube ow'okuzimba ekitebe ekya kkalina, naye n'ettaka omugenda okuzimbwa Poliiisi, Eddwaliro eddene, wamu n'ekkooti weeriri era mu kiseera kitono nnyo okuva kati Lwengo ejja kuba ng'etangalijja.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...