TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba NUCAFE batandise kaweefube ow'okutumbula omutindo gw'emmwaanyi

Aba NUCAFE batandise kaweefube ow'okutumbula omutindo gw'emmwaanyi

Added 20th February 2017

Aba NUCAFE batandise kaweefube ow'okutumbula omutindo gw'emmwaanyi

 EYALI minisita Gerald Ssendawula N'Omumerika nga beegayaamu ku by'omutindo gw'emmwaanyi

EYALI minisita Gerald Ssendawula N'Omumerika nga beegayaamu ku by'omutindo gw'emmwaanyi

EYALI minisita Gerald Ssendawula akulembeddemu abalimi okutumbula omutindo n’obungi bw’emmwaanyi mu Uganda nga bayita mu kuzimba ekyuma ekisunsula n’okukola kaawa e Nammanve.

Ssendawula ye sentebe w’ekibiina kya( National Union of Coffee Agribusiness and Farm Enterprises) NUCAFE ekigatta abalimi n’abasuubuzi b’emmwaanyi ng’ali wamu ne Joseph Nkandu akikulira, ku Lwomukaaga baakyazizza Abamerika okuva mu Silcon Valley e California mu Amerika mu kaweefube w’okutumbula emmwaanyi.

Nkandu ng’annyonnyola Abamerika abaakulembeddwa Jeff Miller okuva mu Santa Clara University , yategeezezza nti ekyuma kino kye bazimbye sente ezimu zivudde mu balimi bennyini endala ne zibaweebwa ababayambyeko.

 

Yagambye nti kaweefube wookukola bino byonna baagala okuzimbawo sitoowa ennene ennyo bakung’aanye emmwaanyi, okuzimbawo ekifo webatendekera abalimi b’emmwanyi n’asaba gavumenti n’ebitongole ebiwola sente biyambe abalimi bafune sente ku magoba agasaanidde.

Ssendawula yagambye nti omulimu gwe bakoze gulabikako kubanga batono abavuddeyo okutumbula emmwaanyi so nga ziyingiza sente n’asaba Miller ategeeze banne bwe kibeera kisoboka babasuule omukono basobole okwongera ku mulimu bagumalirize.

Miller yagambye nti ekintu kye yalabye kiyamba nnyo okufunira abantu wabula abantu sekinnoomu ebatera kukikola asinga kukiraba mu bbanka ya nsi yonna. Yasuubizza nti ensonga bagenda kwongera okuzeetegereza nga bazzeeyo ewabwe balabe webayinza okukwasizaako.

Nkandu yagambye ekyuma kye bazimbye kigenda kubeera nga kisunsula emmwanyi okuva mu kikuta bagiyise mu mitendera okutuuka nga bafulumizza kaawa era mu kiseera kino bali mu kukigezesa.  Annyonnyola nti ekibiina ky’akulembera kirimu abalimi okwetoloola eggwnaga nga beegattira mu bibiina bya balimi okuva ku 30, 50 n’okweyongerayo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...