TOP

Poliisi ekutte abakazi abafumbo 3 mu kikolwa

Added 21st February 2017

OMUTAMBUZE omu ye yasoose okulaba emmotoka eyabadde yeenyeenya nga bwe yeesuukunda obutasalako. Yayimiridde era wano banne abalala we baamwegattiddeko okuzuula ekyabadde mu mmotoka.

Abakyala abaakwatiddwa

Abakyala abaakwatiddwa

Bya VIVIEN NAKITENDE

OMUTAMBUZE omu ye yasoose okulaba emmotoka eyabadde yeenyeenya nga bwe yeesuukunda obutasalako. Yayimiridde era wano banne abalala we baamwegattiddeko okuzuula ekyabadde mu mmotoka.

Mu kaseera katono mmotoka ya Paatulo yabadde amaze okutuuka, era abaserikale baayanguye okwetooloola emmotoka eno, kyokka ng’abagirimu balabika tebakyafa ku biri ku nsi! Omu ku baserikale yakonkonye ku mmotoka era n’abakubamu ttooci.

Richard Ssebaggala 42, omusajja eyalya emmere n’agikkuta, eyabadde obute, yapapye okubuuka ku mukazi omufumbo, Hajara Natongo 23, gwe yabadde aganzise ku mazzi g’obuveera aga kkampuni ya ‘Pure Oceans Drinking water’ ge yabadde atambuza.

Emmotoka mwebaakwatiddwa

 

Era okubakwata baabadde mabega mu mmotoka eringa eya kamunye gye baggyamu emitto gy’emabega.

Mmotoka ya kkampuni mwe baabakwatidde eri nnamba UAN 860D.

Ssebaggala ne Nantongo abaasoose okwebwalabwala nga poliisi yaakabakonkona, oluvannyuma baakaze amaaso ne baagala okwekaliza ku baserikale nga bwe bababuuza omusango gwe bazzizza kubanga baabadde mu mmotoka munda ate nga n’obudde bwazibye dda era tebalina muntu gwe beesittazza.

Nantongo omutuuze w’e Mutundwe Kabaawo Zooni, mukyala mufumbo era takola abeera waka kulabirira baana ne bba. Ssebaggala mutuuze mu Zooni ya Central e Kabowa.

Mu mmotoka mwe baabadde, Poliisi yasanzeemu obupiira obukozeseddwa nga buli ku mazzi g’obuveera ge baakozesezza ng’omufaliso.

Ekikwekweto kino ekyakoleddwa Poliisi y’e Kabowa ku Ssande ekiro, tekyakomye ku ba Ssebaggala, wabula kyeyongeddeyo mu bitundu by’e Kabowa, Kitebi ne Wankulukuku era ne kikwata n’abalala omwabadde:

Abalala abaasangiddwa mu kikolwa 1 Bernard Tugume 32, yasangiddwa e Kitebi mu mmotoka ye pick up nnamba UAN 261S ng’asinda omukwano ne Hanifer Mutesi 20. Mutesi mutuuze mu Zooni ya Ssuuna e Kabowa.

Tugume naye mutuuze w’e Kabowa nga yagambye nti ddereeva wa kitongole ekimu.

2 Robert Mulindwa 35, yasangiddwa e Wankulukuku okumpi ne kkampuni ya Ssembule mu mmotoka ye UAS 642S mwe yabadde ne Sharon Nanfuka 22, ng’ono naye mufumbo.

Nanfuka mutuuze w’e Nyanama, akola mu supamaketi eyitibwa USAFI e Lubaga, ate Mulindwa mutuuze wa Church Zooni e Kabowa era muzimbi.

Bano bonna baasangiddwa bukunya nga bali mu kikolwa, era poliisi yabatuuseeko ng’ekitambo ky’omukwano kikyabatembye nga tebamanyi na kumanya nti bazindiddwa okutuuka lwe baakubiddwaamu ttooci ne bamanya nti giwunye, ne batandika okwambala.

Abasajja abaakwatiddwa mu kikwekweto kino

 

Abakazi balaajanye okuba abafumbo

Mu kukwatibwa abakazi abaasoose okwekaza, bwe baalabye poliisi ebalemeddeko baalaajanye ne basaba babaleke badde awaka nti kubanga bafumbo, era omu Hajara Nantongo yakaabye n’ategeeza nga bw’ayagala ennyo bba n’abaana baabwe nti wabula atuuse okubafiirwa ssinga bba amanya nti yakwatiddwa mu bwenzi.

“Omusajja wange gwe njagala n’abaana hhenda okubafiirwa mu bintu ebitaliimu, munsonyiwe siriddira nsobi eno,” Mutesi bwe yalaajanye.

Ate ye Nanfuka bwe yabuuziddwa ekyamutuuseeko okusinda omukwano n’omusiguze ku kkubo, yategeezezza nti bba amwagala naye amulabako olunaku lumu lwokka mu wiiki ky’ava yeeyiiyaako ebbali.

Ye bba wa Mutesi ataategeerekese mannya nga mugoba wa bodaboda e Kitebi, bino olwamugudde mu matu n’ajja ku poliisi n’alagira mukyala we obutadda waka anoonye gy’agenda n’obwenzi bwe.

Okufaananako ne Ssebaggala, abakwate bonna bakira basooka kuwaanyisiganya bisongovu ne poliisi nga bwe bagibuuza ebabuulire etteeka lye bamenye okwesanyusa ate mu bidduka byabwe.

Baalwanyisizza poliisi naye poliisi n’ebasinza amaanyi era bonna ne batwalibwa ku poliisi e Kitebi n’emmotoka zaabwe ne baggalirwa.

Atwala poliisi y’e Kitebi, Abdu Hamidu Kabojja yagambye nti abakwate bagguddwaako omusango gw’okusasamaza abantu ku fayiro SD: 47/18/02/2017 kubanga baabadde mu kikolwa eky’omukwano era eky’ensonyi ku kkubo nga buli muntu ayitawo ayimirira okwetegereza ekigenda mu maaso.

Ono yawabudde abaagalana okwewa ekitiibwa baleme kukola nsobi ng’eno kubanga loogi eza ssente entono gyeziri okusinga okweswaza.

Era yawabudde abafumbo bulijjo okubeera abeesigwa baleme kuswala eri abaami oba abakyala n’abaana baabwe. bavumiridde ekikolwa kino.

Abantu baakungaanidde ku poliisi e Kabowa okwerabira ku baseegu bano era bangi baavumiridde ekikolwa ky’abantu bano be bagamba nti si banaku okumalira ensonga z’omukwnao gwabwe ku kkubo ng’enkoko.

Ne bategeeza nti kya butaliimu nsa naddala ku bafumbo okwenda ate ne bakikolera ku kkubo mu lujjudde kye baagambye nti kiweebudde ennono y’obuntubulamu mu ggwanga, ne basaba poliisi ebakangavvule babeere ekyokulabirako eri abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakooza Mutale ng'aliko byannyonnyola.

Enkwe za baminisita ze ziwa...

MAJ. Kakooza Mutale awabudde Pulezidenti Museveni ku nsonga ezaamuwanguzza mu Buganda n'awakanya abakissa ku busosoze...

Balumirizza Cameroon eddogo

KATEMBA yalabikidde mu mpaka za CHAN eziyindira mu ggwanga lya Cameroon, omutendesi wa Zimbabwe, Zdravko Logarusic...

Pasita Musisi n’abazannyi ba Busiro abaasoose mu kkanisa ye e Kaggala, Wakiso ku Ssande.

'Ababaka mulwanirire emizan...

PASITA Paul Musisi, akulira ekkanisa ya Caring Heart Ministries e Kaggala mu Wakiso adduukiridde ttiimu y’essaza...

Abavubuka ba Yellow Power.

Aba Yellow Power baagala Ka...

ABAVUBUKA b'ekisinde kya Yellow Power mu NRM, nga bano bakola gwa kukunga bantu, baagala Ssaabawandiisi  w'ekibiina...

Omuteebi wa Busiro, Usama Arafat ng’asindirira ennyanda ku ggoolo ya Kyaggwe gye yawangula 2-1 mu gy’ebibinja. Eggulo, Busiro yakubye Mawogola 1-0 eggulo okwesogga semi.

Busiro ne Bulemeezi ziri ku...

BULEMEEZI ne Busiro zifungizza okuwangula ekikopo ky'omupiira eky'Amasaza ga Buganda. Bulemeezi yatimpudde Busujju...