TOP

Alumirizza baserikale banne okutta omuntu

Added 24th February 2017

OMUSERIKALE asinzidde mu kaguli ka Kkooti Enkulu mu Kampala n’alumiriza baserikale banne abaali bakuuma eyali omubaka wa gavumenti owa Munisipaali y’e Lubaga, Zaina Muwonge okwekobaana ne batta omuntu nga bamutaddeko omusango gw’obubbi .

Abdurah Kaweesi (ku kkono) Christopher Katimbo, Disan Tumwesigye ne John Kizito Gonzaga abaserikale b’eyali RCC we Lubaga Zaina Muwonge nga bali mu Kkooti Enkulu e Kampala ku musango gw’obutemu . Mu katono, Sensinjo ng’awa obujulizi mu Kkooti Enkulu mu Kampala.

Abdurah Kaweesi (ku kkono) Christopher Katimbo, Disan Tumwesigye ne John Kizito Gonzaga abaserikale b’eyali RCC we Lubaga Zaina Muwonge nga bali mu Kkooti Enkulu e Kampala ku musango gw’obutemu . Mu katono, Sensinjo ng’awa obujulizi mu Kkooti Enkulu mu Kampala.

OMUSERIKALE asinzidde mu kaguli ka Kkooti Enkulu mu Kampala n’alumiriza baserikale banne abaali bakuuma eyali omubaka wa gavumenti owa Munisipaali y’e Lubaga, Zaina Muwonge okwekobaana ne batta omuntu nga bamutaddeko omusango gw’obubbi.

Obed Sensinjo nga muserikale akuuma ababaka ba gavunenti nnamba RF 216 y’alumirizza baserikale banne okuli; John Gonzaga Kizito, Disan Tumwesigye, Christopher Katimbo ne Abdurah Kaweesi okutta William Ramsey Kwizera 20 e Kawaala nga April 25, 2013.

Sensinjo bwe yabadde awa obujulizi mu Kkooti Enkulu mu maaso g’omulamuzi Yassin Nyanzi yagambye nti nga April 25, 2013 yali agenda ku mulimu n’asanga emmotoka ya Gonzaga ku poliisi y’e Kawaala ng’eggyiddwaamu amataala, wabula bwe yabuuza Tumwesigye gwe yasanga mu kawoteeri akali okumpi ne poliisi eno yamutegeeza nti waliwo ababbi abaali bagezaako okugibba era nga baakutteko omu ne bamukuba ne bamukwasa poliisi y’e Kawaala.

Sensinjo yagasseeko nti yakola sitetimenti bbiri, okuli ey’abanoonyereza ku buzzi bw’emisango okuva ku poliisi e Kibuli wamu ne ku poliisi ya Kampalamukadde, nga byonna bye yategeeza poliisi byamugambibwa Tumwesigye, omu ku bavunaanibwa okwenyigira mu butemu buno, era eyamugamba nti be baali bakubye Kwizera nga yali agezaako okubba emmotoka ya Gonzaga.

Wabula looya w’abawawaabirwa, Dennis Atwijukire bw’amubuuzizza oba yalaba abasajja bano nga beenyigira mu butemu buno, Sensinjo yabyegaanyi n’agamba nti teyamanya muntu yattibwa era n’abaamutta teyabategera kubanga teyeetaba mu kunoonyereza.

Mu bujjulizi Sensinjo bwe yawa poliisi obukwata ku musango guno yagamba nti abasajja bano baali batemu nnyo kubanga nga tebannatta Kwizera balina abantu abalala be baali basse nga newankubade teyategeezaako poliisi.

Wabula yafunyeemu obuzibu okuva ewo mulamuzi Nyanzi n’amulabula okumusiba olw’okuba nga bakira atamattama mu bujulizi bwe yawa ku poliisi ya Kampalamukadde n’e Kibuli.

Mu balala abaawadde obujulizi kwabaddeko; James Kizza ng’ono naye alumiriza abasajja bano okwenyigira mu butemu kubanga yawulira Kwizera ng’alaajana ku ssaawa 8 ez’ekiro.

Omusango Omulamuzi yagwongezzaayo okutuusa nga February 27, 2017.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...