TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Katikkiro asabye Gavt. eveeyo ku basamize n'ababuulizi b'enjiri

Katikkiro asabye Gavt. eveeyo ku basamize n'ababuulizi b'enjiri

Added 26th February 2017

Katikkiro asabye Gavt. eveeyo ku basamize n’ababuulizi b’enjiri

 Katikkiro Mayiga (owookubiri ku kkono), Minisita Sarah Opendi, ne Minisita Mukwaya nga batuuka ku mukolo.

Katikkiro Mayiga (owookubiri ku kkono), Minisita Sarah Opendi, ne Minisita Mukwaya nga batuuka ku mukolo.

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga asabye Gavumenti okuvaayo n’amateeka okukangavvula abasawo n’ababuulizi b’enjiri abaggya abantu ku mulamwa nga babagamba nti eddogo n’essaala ez’olutentezi zisobola okubawonya endwadde.

Mayiga yagambye nti, “Ensangi zino abantu basula basaba nti basobola okuwona endwadde ate abalala balowooleza mu ddogo okuwonyozebwa.

Nsaba Gavumenti eveeyo ku bantu bano abakuumira abantu baffe mu batamanya.” Bino Katikkiro yabyogeredde ku kitebe kya Minisitule y’ebyobulamu mu ggwanga e Wandegeya ku Lwokutaano February 24, 2017 ku mukolo ogwabadde ogw’okwongera okunyweza enkolagana wakati w’Obwakabaka ne Gavumenti eya wakati mu kulwanyisa obulwadde bwa sikooseero.

Minisita owa gunonaguli mu Minisitule y’ebyobulamu mu ggwanga, Sarah Opendi yategeezezza nga bwe baakola okunoonyereza ne bakizuula ng’obulwadde buno buli mu disitulikiti 49 mu Uganda naye nga 14 ze zisinga okubeeramu abalwadde abangi abakola ebitundu 47ku buli 100 nga ku zino ttaano zisangibwa mu Buganda okuli Luweero, Buikwe, Wakiso, Kampala ne Masaka.

Opendi yagambye nti, “ Tunoonya okukolagana n’abeemikago bangi mu kulwanyisa obulwadde buno era nsaba abantu baffe bafumbiriganwe oluvannyuma lw’okubwekebeza kubanga bwa bbeeyi okubujjanjaba.” Wano Katikkiro Mayiga eyawerekeddwaako Dr. Ben Mukwaya (ow’ebyobulamu e Mmengo) ne Henry Ssekabembe (ow’ebyemizannyo), we yategeerezza nti, Obwakabaka bugenda kuteekawo ekiragiro bassenga okubuuliriranga abaana baabwe okwekebezanga n’abaagalwa baabwe ng’omukolo gw’okwanjula tegunnabaawo.

Kabaka yasiima okutandika n’omwaka guno emisinde gy’okukuza Amazaalibwa ge gikuzibwe wansi w’omulamwa gw’okubunyisa amawulire ku bulwadde bwa Sikooseero. Gino gyakubaawo nga April 9, 2017 mu Lubiri e Mengo.

Abakugu ab’enjawulo okuva e Mulago nga bakulembeddwaamu Dr. Doreen Birabwa (omumyuka w’akulira eddwaaliro lino) yategeezezza nti bagenda kulaba nga bongera amaanyi mu bulwaliro obujjanjaba endwadde eno.

Ruth Mukiibi akulira Sicklecell Association Of Uganda ku lw’ebibiina by’Obwannakyewa ebirala yeebazizza Kabaka olw’okuvaayo okwongera eddoboozi lye ku bulwadde buno bwongere okutegeerwa nti kizibu kinene.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...