
Omusirekale wa poliisi nga beezooba ne Natukunda okumuyingiza mu ofiisi ya Ssentebe wa LC.
WAABADDEWO katemba atali musasulire, poliisi bwe yeezoobye ne landiroodi agambibwa okutunda ebintu by’omupangisa we.
Bino byabadde Makindye mu zooni ya Military Barracks, Faith Natukunda, nnannyini mayumba g’abapangisa mu kitundu kino bwe yageze ng’omu ku bapangisa be agenze mu kyalo n’amenya ennyumba ye n’aggyamu ebintu bye n’assaamu omulala.
Omupangisa ono eyategeerekeseeko erya Joan yagenze okudda nga mu muzigo gwe mulimu muntu mulala nga n’ebintu bye byonna tebirabika kwe kwekubira enduulu ewa Ssentebe wa LCI, Isa Iga eyaleese poliisi y’e Katwe emuyambeko.