TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ow'emyaka 25 ebintu kata bimusubye okwanjula omukazi akuliridde

Ow'emyaka 25 ebintu kata bimusubye okwanjula omukazi akuliridde

Added 27th February 2017

Anti abako bwe baasituse okusomba ebintu, okukkakkana nga banjuddeyo kkiro ya ssukaali emu, ey’ennyama, ey’omuceere n’ey’omunnyo.

 Omumbejja Namazzi ne Tibemanya nga bamema.

Omumbejja Namazzi ne Tibemanya nga bamema.

OMUVUBUKA ow’emyaka 25 acamudde abantu bw’ayanjuddwa omukazi akuliridde.

Andrew Tibemanya omukozi mu kirombe ky’amayinja e Kawanda yatuukidde mu mizira mu maka ga Ssaalongo Paul Katongole e Kawanda, Kirinnyabigo kitaawe w’omumbejja Reginah Namazzi gye baabadde bamulindiridde.

Omukolo gwasoose kutambula bulungi kyokka essaawa y’okuleeta ebirabo by’abakulu yatabudde kitaawe wa Namazzi.

Anti abako bwe baasituse okusomba ebintu, okukkakkana nga banjuddeyo kkiro ya ssukaali emu, ey’ennyama, ey’omuceere n’ey’omunnyo.

Kuno baagasseeko liita y’amafuta ne kkuleeti za sooda bbiri.

Wano taata gwe baabadde batuuzizza mu ntebe enkadde (abako gye baaleese), we yayombedde ng’ababuuza kye bagenderedde okumuswaza nga baleeta obuntuntu!

Yeekandazze n’ava mu kidaala, omukolo ne gusooka guyimiriramu. Namazzi yamukkakkanyizza, omukolo ne gugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...