TOP

Sitampu etabudde olukiiko lw'ekyalo

Added 27th February 2017

Sitampu etabudde olukiiko l'ekyalo

 Abamu ku batuuze nga batabukidde mu lukiiko

Abamu ku batuuze nga batabukidde mu lukiiko

OLUKIIKO lw’ekyalo kye Masanafu Kinoonya  zooni olwayitiddwa okulaga abatuuze obukulembeze obw’ekiseera lusasise ng’entabwe evudde ku bamu ku batuuze kubuuza agenda okubeera ne sitampu.

Bino byonna okubaawo mu lukiiko olwatudde ku Ssande nga lwajjumbiddwa  abatuuze basoose kulagibwa akola nga Ssentebe w’ekyalo kino  Nalongo Grace Tamuzadde Ssande ng’ono yeyazze mu bigere bya Salongo George William Seguya eyafa  wiiki satu eziyise n'abalala baanaakola nabo ku lukiiko.

 

Nalongo Ssande yagambye nti Ssentebe Seguya ng'afudde sitampu  yatwalibwa RCC  Ntulume Bwabye wa Lubaga Mw Ntulume oluvannyuma n'ayita bonna abaali ku lukiiko ne basalawo nti yaba akola nga ssentebe okutuusa okulonda nga kulangiriddwa.

“ Batuuze banange RCC Ntulume Bwabye  yatuyita nga ensonga yonna yetololera ku kufuna bukulembeze kuba ssentebe waffe yafa  era bwetwatuula ne basalawo nti nze mba nkola nga ssentebe  okutuusa nga okulonda  kwabonna kutegekeddwa” Nalongo Ssande bwe yategezezza.

Wabula Nalongo Ssande yabadde yakamaliriza okwogera  omu ku batuuze Sepiriya Kabuuka nga obwedda y'akunga abatuuze okugenda mu lukiiko ng’akozesa ambulance y’omubaka Kasibante  yakutte akazindaalo n'ategeeza nga abalondeddwa nga bwe baliwo mu bukyamu nga wano yeyabadde ensimbuko y’okutabuka kw’olukiiko.

Kabuuka bwe yakutte akazindaalo yagambye nti abalagiddwa ekyalo nga abakulembeze baliwo mu bukyamu nga kkooti yabasazaamu nga bbo abatuuze beebalina okwelondera abakulembeze baabwe ekyawalirizizza omuwandiisi  Richard Ssonko okumulumba n'amusikako akazindaalo.

 

Embeera eno yawalirizza akulira poliisi ye Lugala Muzafaru Magumba okukwata akazindaalo n'ategeeza nga olukiiko bwaluyimirizza oluvannyuma lw’okukizuula nti abatuuze tebajja kusobola kuteesa n'alagira Kabuuka okuggyawo mmotoka y’emizindaalo n'abatuuze badde ewabwe .

Omubaka wa Lubaga North mu  paliamenti Moses Kasibante eyatuuse ng’olukiiko lwabuse yategeezezza nti abatuuze bwe baba tebamatidde b’ekubire enduulu ewa Meeya wa Lubaga Muky. Joyce Ssebuggwawo asobole kubalungamya kuba LC zonna mu kitundu kino ziri wansi we era nga mu kiseera kino balina okumanya alina sitampu.

Okusika omuguwa ku ani anakulembera ekyalo kino kwatandika nga Ssentebe Seguya yakafa  nga waliwo abaali baagala okubeeraa ne sitampu ekyawaliriza RCC  wa Lubaga  Ntulume Bwabye okugitwala okutuusa lwe yakwasiddwa Nalongo Ssande.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...