TOP
  • Home
  • Agawano
  • Tanga Odoi agobye ebiwandiiko bya Watongola: 'Osobola kwesimbawo ku bwakansala na LC1'

Tanga Odoi agobye ebiwandiiko bya Watongola: 'Osobola kwesimbawo ku bwakansala na LC1'

Added 2nd March 2017

Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda mu NRM, Dr. Tanga Odoi awadde abadde omubaka wa Munisipaali y’e Kamuli, Hajjati Rehema Watongola amagezi yeesimbewo ku bifo ebitamwetaagisa buyigirize bwa siniya eyookuna n’omukaaga.

 Dr. Tanga Odoi

Dr. Tanga Odoi

BYA ASHRAF KASIRYE

Asobola okwesimbawo nga kkansala wa LC3 ne LC5 oba ssentebe wa LC 1.

Odoi okwogera bino yasoose kulayira nga bw’atagenda kuwandiika Watongola wadde yagenze n’aggyayo empapula z’okuvuganya mu kamyufu ka NRM, n’amugamba asooke alage ebbaluwa ye eya Siniya eyookuna entuufu alyoke amuwandiike.

Ono yabadde alangirira nga bwe bakomezza okugaba empapula eri abaagala okuvuganya mu kukwatira NRM bbendera nga bajjuza ekifo ekibaddemu Watongola.

Yagambye nti abantu mwenda be baggyeeyo empapula era basuubirwa okuzizzaayo nga bamaze okuzijjuza ku Mmande n’Olwokubiri lwa wiiki ejja.

Hajjati Rehema Watongola

 

Odoi yagambye nti ye talina buzibu ku Watongola, wabula yeewala kusuula NRM mu misango, ssinga wabaawo avaayo n’awawaabira ekibiina olw’okusimbawo omuntu atalina buyigirize.

“Twamuwadde empapula, naye singa azikomyawo ng’ataddeko ebbaluwa ze yakozesa omulundi ogwasooka ng’ate kkooti yazisazzaamu nti njingirire, tetujja kumuwandiisa.

Bw’aba asobola addeyo asome osanga anaavuganya naawangula mu kisanja ekiddako,” Odoi bwe yagambye.

Ku bagyeewo empapula kwabaddeko eyali omubaka wa Bugabula South mu Disitulikiti ya Kamuli Dr. Asumani Kiyingi, ng’ono yagambye nti azze kutaasa kifo kya NRM kireme kutwalibwa baaludda luvuganya Gavumenti, kubanga abadde abasobola Watongola ayinza obuteesimbawo.

Ono yagambye nti ssinga Watongola ebibye bimala ne bigonjoolwa, ne bamukkiriza okuvuganya ajja muleka mu lwokaano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...