TOP

Bishop Makumbi yeetondedde Bishop Kiganda

Added 3rd March 2017

Bishop Makumbi yetondedde Bishop Kiganda

 Bishop Kiganda ku kkono nga basikangana mu mukono ne Bishop Makumbi ku ddyo

Bishop Kiganda ku kkono nga basikangana mu mukono ne Bishop Makumbi ku ddyo

BISHOP Patrick Makumbi yetondedde Bishop David Kiganda  ku bibaddewo  ng’omusajja  Joseph Kato Mukasa amulumiriza nti y'omu ku babadde bamuteekamu ssente okwonoona erinnya lya Makumbi.

Kino kiddiridde Mukasa okuvaayo n'ategeeza kkooti ya Tweed Towers mu musango nga Bisopu Makumbi gwe yamuggulako ogw'okumwonoonera erinnya nti abadde akozesebwa abasumba okwonoona erinnya lye .

 

Bishop Makumbi yatwala Mukasa mu kkanisa ye naawa obujulizi mu maaso g'endiga oluvannyuma n'atwalibwa ne ku ttivi ya Chanel 44 ku kkanisa ya Robert Kayanja n'alumiriza  Kiganda, omusumba Lwere, Solomon Male ne Junior Matovu nti be baali bamukozesa okwonoona erinnya lya Makumbi.

Kino kyanyiiza Bishop Kiganda okumuyingiza mu nsonga zino n'akola pulogulamu ku ttivi nga alaga obufere bwa Mukasa ekintu ekyayongera okuleeta  obutakkaanya wakati w'abasumba bano bombi .

Ku Lwokuna  wategekeddwaawo olukung'aana lw'abamawulire  olwatudde ku Garden Hotel e Zana ku kidda e Nnyanama Bishop Makumbi we yasisinkanidde Bishop Kiganda  n'amwetondera olw'okumwonoonera erinnya.

 

Makumbi yetondedde Kiganda olw'okutwala Mukasa mu kkanisa ne ku ttivi ewa Kayanja n'atandika okuwa obujulizi ng’alumiriza Kiganda okumukozesa obufere, Kiganda naye yetondedde Makumbi olw'ebyo  ebyayita ku leediyo ye nga Mukasa alumiriza Makumbi  wabula Kiganda teyamatidde nabigambo bya Mukasa kyokka nga mu byonna Kiganda ye yalaze nti teyamatidde na bigambi bya Mukasa

Mu lukung'ana lw'abamawulire olwategekeddwa Reuben Kwagala yategeezezza nti ye talina ludda wabula oluvannyuma kyategeerekese nti yavudde ku ludda lwa Makumbi wadde nga kyawuliddwako abantu nga bagamba nti yavudde ku ludda lwa Makumbi.

 

Joseph Kato agambibwa okutabulatabula enjuuyi zombi naye yabaddewo mu nsisinkano eno era era Bishop Kiganda bwe yatandise okumusoya ebibuuzo natandika okuvaamu entuuyo ezitakalira.

Mukasa yategeezezza bannamawulire nti ye yatandika dda okufera abalokole mu 2003 oluvannyuma lw'okuwulira akatambi ka Ben Katamba eyali awa obujulizi ng’agamba nti yali akka mu nnyanja naye natandika okuwa obujulizi nti musamize olw'okwagala okufuna ssente mu balokole.

Mu lukung'aana luno lwe tabiddwaamu abasumba abenjawulo abaasoyezza Makumbi obwedda abasoya Bishop Makumbi ebibuuzo era abamu baatuuse okuvaayo nga balaba nga firimu yennyini owedde emirimu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...

Poliisi ng'eri e Ssembabule okukkakkanya abalonzi ba NRM mu kamyufu gye buvuddeko

Abantu 45 be baafiiridde mu...

ABANTU 45 be bafiiridde mu buzzi bw’emisango obubaddewo wiiki ewedde obulese abalala 33 mu makomera.

Robert Kyagulanyi Ssentamu

DPP yeddizza omusango gwa K...

KKOOTI eggye enta mu musango gw'okulimba emyaka, munnamateeka Hassan Male Mabiriizi gweyawaabira omubaka wa Kyadondo...

Gav't etaddewo obukwakkuliz...

GAVUMENTI etegeezezza nti abasuubuzi abaagala okuddamu okusuubula ebintu ebiva n'okutwaliribwa mu mawanga g'ebweru...

Minisita w'Ebyensimbi Kasaija ne Byarugaba akulira NSSF nga boogera

Bannayuganda muve mu kwejal...

MINISITA w'ebyensimbi Matia Kasaija alabudde Bannayuganda bave mu kwejalabya batereke ssente ezisobola okubayamba...