TOP

Katikkiro Mayiga alambudde Mayanja Nkangi

Added 6th March 2017

FAMIRE ya Mayanja Nkangi eyali Katikkiro wa Buganda boogedde ku mbeera y’obulamu bw’omuntu waabwe ne bategeeza nti abasawo bakola buli ekisoboka okulaba nga batereeza embeera y’obulamu bwe etannaba kutereera.

 Katikkiro ng’azze okulaba ku Nkangi

Katikkiro ng’azze okulaba ku Nkangi

Muwalawe Josephine agamba nti famire yali esazeewo omulwadde okumutwala e Buyindi asobole okwongera okufuna obujanjabi, kyokka nga February 19, 2017 embeera y’omulwadde yeeyongera okutabuka ne bamuddusa mu Nakasero Hospital.

Mu kiseera kino abasawo bakola buli ekisoboka okulaba nga bataasa obulamu bwa Mayanja Nkangi alabika ng’afunyeemu olungubanguba mu kiseera kino.

Aba famire bakkiriza nti omulwadde ayagalwa abantu bangi mu ggwanga lyonna era bangi bandyagadde okumulambulako mu ddwaliro gyali.

Kyokka baasabye abantu bonna okusooka okuleka omulwadde awummulemu, kuba tannaba kuddamu kufuna maanyi.

Oluvannyuma balimulambula ng’embeera eteredde bulungi. Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga bwe yabadde tannaba kusitula kugenda Buvuma okwetaba ku lunaku lwe by’obulamu, yasoose kuyitirako mu ddwaliro e Nakasero ku Lwokutaano n’alambula ku mukulu munne.

Nkangi lumu yategeeza Bukedde nti ekimu ku kimuyambye okuwangaala kwe kuba nga tatera kulwala, ekintu kye yassa ku kisa kya Katonda.

Mayanja Nkangi ye yali Katikkiro wa Buaganda Obwakabaka we bwawerebwa mu 1966 n’akuuma ddamula okutuusa mu 1993 Obwakabaka lwe bwaddawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu