TOP

Ssedduvutto bamukalize emyaka 7 mu kkomera

Added 6th March 2017

OMULAMUZI omukulu mu kkooti e Ntebe, Mary Kaitesi Kisakye akalize ssedduvuto, Reagan Mwanje ng'oluusi yeeyita Kabugo ow'emyaka 22 nga mutuuze w'e Bumpenje-Kasanje mu Kajjansi Town Council okwebaka mu nkomyo emyaka 7 lwa kujjula bitannajja.

BYA YUDAAYA NALWEGAYO

Omulamuzi okuwa ensala ye kiddiridde omuwawaabirwa okukkiriza omusango  gw'okusobya ku Edith Nabawanuka ow'emyaka 16 eyali omuyizi mu Jjungo P/S mu kibiina eky'omusanvu namutikka n'olubuto.

Bino byaliwo mu mwezi gwa August wa 2016 nga omuwawaabirwa akola ogwobukuumi yalabiriza bazadde b'omuwala nga tebaliiwo namugwako ekiyiifuyifu namukozesa mu nsonga z'omukwano.

Bwabadde awa ensala ye, omulamuzi Kaitesi alaze nga omuwawaabirwa bwatali mwetoowaze kuba azze anyooma abenganda zomuwala buli lwebamusaba obuyambi nokufuula omuwala nakazadde ku myaka emito kwekumuwa ekibonerezo kyokusibwa agololwe ettumba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Salvado ne Daphine nga bakung'aanya ebirabo.

Kazannyirizi Salvado ne Dap...

Kazannyirizi Salvado akiggadde mu sitayiro. Akubye kabiite we Daphine embaga ne yewaana. '' sikyali mu kiraasi...

Aboobuyinza nga bakunya omukazi.

Abatunda eddagala nga tebal...

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala mu ggwanga ekya National Drug Authority kikoze eki kwekweto mu Buvanjuba...

Minisita Betty Amongi

Abasuubuzi be Nakasero bawa...

ABASUUBUZI ababadde baddukanya akatale k'e Nakasero bavudde mu mbeera ne bawa minisita wa Kampala n'ekitongole...

Nsereko Mutumba

Hajji Mutumba alabudde abak...

ABADDE omwogezi w'ekitebe ky'Obusiraamu e Kampalamukadde ekya Uganda Muslim Supreme Council Hajji Nsereko Mutumba...

Abatuuze nga bali mu kkooti e Nabweru.

Abakolera ku ttaka lya Gavu...

OMULAMUZI ow'eddaala erisooka ku kkooti y'e Nabweru, Ssanyu Nalwanga Mukasa akkirizza abantu 17, abaakwatibwa ku...