
Ababaka okuli Jacqueline Amongin (Ngora), Polof. Morris Ogenga Latigo (Agago North), Anifa Bangirana Kawooya (Ssembabule), Felix Okot Ogong (Dokolo South) ne Babirye Kadogo (Buyende) bali South Africa gye baagenze okwetaba mu lutuula lwa Palamenti ya Africa e Midrand , South Africa.
Kyokka baasimatuuse okubbibwa abazigu b’emmundu abaazinyizza bannaabwe okuva e Kenya , Mozambique ne Tanzania ne babanyagulula.
Amawulire okuva mu nkambi y’ababaka ba Uganda abaagenze e South Africa gaategeezezza nti be baanyaze (ababaka b’e Kenya, Mozambique ne Tanzania). Baabagoberedde okuva ku kisaawe ky’ennyonyi ku Thabo Airport e Johannesburg okutuuka ku wooteeri mwebasula eya Mercure Hotel ne bababbira ku ggeeti nga tennayingira.
Bye babbye kuliko ensimbi enkalu, paasipooti, n’ebintu ebirala. Omu ku baabadde n’ababaka ababbiddwa yakubiddwa pisito ku mutwe.
Mu lutuula lwa Palamenti ya Africa ababaka baatabukidde Pulezidenti wa Palamenti eno, Roger Nkondo nga baagala abakakase ku by’okwerinda kwabwe. Kyokka Nkondo yagambye nti South Africa yali egumiza ababaka nti eby’okunyagibwa tebigenda kuddamu n’agamba nti gavumenti ya South Africa y’erina obuvunaanyizibwa bw’okukuuma.
Guno ssi gwe mulundi ogusoose obunyazi nga buno okubaawo. Omwaka oguwedde ababaka okuva mu Uganda babbibwa mu ngeri y’emu.
Ebyo nga biri eyali, omuwandiisi w’ekitebe ky’omukago gw’amawanga g’Obuvanjuba bwa Africa era nga yali mubaka w’e Kabalore, Beatrice Kirago asubiddwa ekifo ky’okufuuka kalaani wa Palamenti ya Africa ne kitwalibwa Vipya Harawa ow’e Malawi.