TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasomesa ab'ebulankanya ku masomero baakutwalibwa mu kkooti

Abasomesa ab'ebulankanya ku masomero baakutwalibwa mu kkooti

Added 8th March 2017

Abasomesa ab'ebulankanya ku masomero baakutwalibwa mu kkooti

Bya Phiona Nannyomo

OLUVANYUMA lw’omuwendo gw’abasomesa abebulankanya ku masomero mu biseera by’okusoma okweyongera kino kiwalirizza abakulira eby’enjigirizza mu munisipaali ye Masaka okubakuba mu mbuga z’amateeka bavunaanibwe.

Okusinziira ku akulira eby’enjigirizza mu mu Munisipaali eno Steven kakeeto ayisizza ekiragiro eri abakulira amassomero ga gavumenti naddala pulayimale okuweereza amannya g’abasomesa abebulankanya ku massomero mu kiseera kino mu offiisi z’abakulira eby’enjigiriza olwo batwalibwe mu kkooti bavunaanibwe nti kuba kuno kuba kulyazamanya gavumenti.

Kakeeto agambye nti bbo nga abakulira eby’enjigiriza tebasobola kugumikiriza basomesa abekikula kino okusigala nga basasulwa omusaala kyokka nga tebasomesa mwana wa ggwanga kyagambye nti kikafuuwe.

Kakeeto okwogera bino asinzidde mu lukiiko lw’abazadde,abakulu b’amassomero wamu n’abakulira eby’enjigiriza olutudde mu kisenge kya meeya ekitesezebwamu ensonga za munisipali nga lwategekeddwa ekibiina kya Masaka Green light impact Assessment program(MAGLIP)

Ono agambye nti kyakubayambako okukangavvula abassomesa abagufudde omugano gw’okwebuzaabuza ku massomero kyokka nga basasulwa omusaala.

Mu lukiiko lwe lumu ye avunaanyizibwa kukulambula kwa’amassomero ga gavumenti mu munisipali eno Beatrice Ssekiwunga ayongedde okulumirizza abassomesa mu massomero mu kitundu kino n'ategeeza nga kino ky'ekimu ku biviiriddeko eby’enjigiriza okusereba mu Masaka.

Ssekiwunga agaseeko nti amassomero agamu naddala agali ku musingi gw’obusiramu tegagoberera nsomesa eri mu mateeka g’eby’enjigirizza(Syllabus) nga gano gassomesa massomo gaddiini y’akisiramu  ekigavirako okukola obubi nasaba bekikwatako ensonga eno okugyekenenya amangu ddala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...

Ennyumba Aligo gy'asulamu wamu ne bazzuku

WORLD POPULATION DAY: Abant...

KU Lwomukaaga nga July 7 lunaku lwa nsi yonna olw’obungi bw’abantu era eggulo we lwatuukidde nga mu Uganda mulimu...

   Jane Nnabukeera eyasudde bbebi mu kabuyonjo

Wuuno maama eyasudde bbebi ...

Poliisi egamba nti Nnabukeera ng'amaze okusuula omnwana we mu kaabuyonjo yaddayo n'abikira abatuuze nga bwe yamufiiriddeko...