TOP
  • Home
  • Agawano
  • Omuvuzi wa bodaboda yeefuulidde omusaabaze n'amukaka omukwano

Omuvuzi wa bodaboda yeefuulidde omusaabaze n'amukaka omukwano

Added 10th March 2017

OMUVUZI wa bodaboda yeefuulidde omukazi eyamupangisizza okumutwalako ekiro n’amukaka omukwano.

 Kasule eyakutte omukazi.

Kasule eyakutte omukazi.

Omukazi ono yapangizizza owa bodaboda ku ssaawa 6:00 ez’ekiro, amutwaleko ewa mukwano gwe e Kabuuma mu Munisipaali y’e Makindye - Ssaabagabo.

Jibur Kasule 32, eyabadde avuga pikipiki nnamba UDP 635R ng’akolera ku siteegi y’e Kabuuma yamusabye amutwale e Salaama. Yavuzeeko akabanga katono ne batuuka mu nsiko n’amwefuulira n’amusaba omukwano.

Omukazi yasoose kulowooza nti byakusaaga, yagenze okulaba nga Kasule ayimiriza pikipiki ekyaddiridde kumukwata ku kifuba nga bw’amwambulamu engoye.

Yagezezzaako okwerwanako kyokka okuva bwe bwabadde ekiro tewali muntu yavuddeyo kumuyamba ate nga tewali mmotoka ziyitawo. Kasule yamusinzizza amaanyi n’amukwata.

Omukazi yakedde kugenda ku poliisi y’e Salaama nga yenna ajjudde enkwagulo n’agamba nti Kasule yagezezzaako okumutuga ng’amulemesa okuleekaana era engoye zonna ze yabadde ayambadde ne bazimuyuliza.

Poliisi yanoonyezza Kasule okuva omukazi bwe yabadde yeetegerezza ennamba ya pikipiki ye n’emukwata.

Yamugguddeko omusango gw’okukwata omukazi wamu n’okumutulugunya ku fayiro nnamba SD. REF: 02/01/03/2017.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...