TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omukyala yeekobaanye n'akulira ebyokwerinda ne bajingirira ekyapa kya bba

Omukyala yeekobaanye n'akulira ebyokwerinda ne bajingirira ekyapa kya bba

Added 11th March 2017

Omukyala yeekobaanye n'akulira ebyokwerinda ne bajingirira ekyapa kya bba

SSENTEBE n'akulira eby'okwerinda balidde matereke oluvannyuma lw'owebyokwerinda okwekobaana ne mukyala wa ssentebe ne bagingirira ebiwandiiko by'ennyumba ya ssentebe ne babizza mumannya g'omukyala ne beewola ssente mu Bank ne zibalema okusasula.

Bino biri Namasuba mu zooni ya Kalina, ssentebe George William Walugembe abadde taliiwo okumala akabanga bw'akomyewo awaka n'asanga ebiwandiiko ku makaage ebiraga nti Bbanka egatwala era yeegavunaanyizibwako.

Walugembe yabadde yeefulukuta mu nnyumba kwekugwa ku biwandiika nga biraga nti amaka gaakyusibwa amannya kati gali mumannya ga mukyala we gwa'amaze naye emyaka 30 mu bufumbo.

Atabukidde omukyala n'ayogera nti  olukwe lwonna baalukola ne Fred Mugerwa oweby'okwreinda ku kitundu, Mugerwa yeeyaayambako Nalunkuuma okujingirira endagaano okuziggya mu mannya ge asobole okwewola ssente , era ne mu kwewola Mugerwa yeeyateeka omukono ku mpapula ezisemba Nalongo ono okufuna ssente nga yeeyise ssentebe w'ekitundu.

Ensonga zongezeddwaayo ku poiliisi y'e Namasuba,  kyokka oluvannyuma Nalongo ne Mugerwa ne bongerwayo ku poliisi e Kawaala gye beewola ssente era bwe batuuseeyo babaggalidde ku misango egy'enjawulo omuli okwefuula kye batali wamu n'okugingirira ebiwandiiko ku ku fayiro SD: 18/10/03/17

George William Walugembe ssentebe agamba;  nnina amaka asatu wano e Namasuba, e Zigoti ne Bbira Wakiso, mu kyalo nninayo pulojekiti y'okulunda enkoko n'okulima, kale obudde bungi ntera ku bumala eyo era bweyakomyewo kko e Namasuba kwekusaga   ebiwandiiko mu maka gange nga biraga nti ennyumba Bank egitwala.

Fed Mugerwa oweby'okwerinda mu zooni ya Klaina e Namasuba agamba; oyo ssentebe okundeeta ku poliisi nsaalwa na busungu bye bimuluma kubanga naamwesimbyeko ku bwa ssentebe obunaatera okubaawo era ng'akimanyi nti ngenda ku muwangula.

Ffenna ku kyalo tukimanyi nti ssentebe y'asuulawo mukyala we we nga tamuwa buyambi era oluusi nze mbaddenga muyambako, nze Nalongo Nalunkuuma yantuukirira n'antegeeza nti muyambeko mmuteere omukono ku mpapula agenda kwewolayo  ssente 500,000/- akole bizinensi y'amanda.

Olw'okuba nkimanyi nti ssentebe yamusuulawo nange kwekusalawo mmuyambe, ku poliisi e Kawaala Mugerwa akkiriza okuymabako Nalunkuuma okujingirira ebiwandiiko n'ategeeza nti yakikola kwagala kuyamba mukyala kufuna kuakukola kubanga ssentebe yali yamusuulaawo.

Ensonga zongezeddwaayo ku poliisi e Kawaala ababiri bano Nalunkuuma ne Mugerwa nebaggalirwa olwokujingirira n'okufuna ssente mu lukujjukujju.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Munnamateeka wa Kyagulanyi, Sseggona (wakati) ng’awayaamu n’omuwandiisi wa NUP, , Lubongoya  (ku ddyo) ku kkooti .

Buubuno obukwakkulizo gavum...

GAVUMENTI eyagala Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alangirire nti tagenda kwetaba mu bikolwa bya kwekalakaasa...

Abantu nga balwana okutaasa ttaanibboyi eyabadde alaalidde mu byuma.

Ensiitaano y'okutaasa ttani...

POLIISI n'abadduukirize kyabatwalidde essaawa 11nnamba okutaasa ttanibboyi Abdu Sserunjogi ebyuma by'emmotoka gwe...

Loodi Meeya Lukwago.

Lukwago anaakolagana atya n...

MUNNAMATEEKA Erias Lukwago 50 asuubirwa okulayizibwa mu wiiki esooka eya June 2021 okutandika ekisanja ekyokusatu...

Kasasiro asuulibwa mu myala ne gizibikira.

15 beesowoddeyo okugonjoola...

ABEESOWODDEYO 15, banaasobola okumalawo ebizibu ebitawaanya abantu ba Kyengera Town Councli ebiremye Abdul Kiyimba?...

Rogers Mulindwa

'Manifesito ya NRM ebyemiza...

ROGERS MULINDWA - OMWOGEZI WA NRM Nsooka okwebaza bannabyamizannyo olw'obuwagizi era njagala okubagumya nti...