
Ezama ng'akwasa Jaffer essimu ebisumuluzo by'ekizimbe.
ABAKUNGU mu poliisi banaabidde munnaabwe Dayirekita w'ekitongole ekikettera poliisi ekya Crime Intelligence, Ndahura Atwoki mu maaso ne bakkiriza omugagga nnannyini Fairway Hotel Aneez Jaffer okumutwalako ekizimbe e Kampalamukadde.
Kino kiddiridde omulamuzi wa Kkooti Enkulu ekola ku nsonga z'ettaka, Andrew K. Bashaija nga February 6, okusala omusango wakati w'omugagga Jaffer ne Baisa Idi ne Equity Bank Atwooki be yali yawa obuvunaanyizibwa okuddukanya ekizimbe ekibadde kikaayanirwa ku Plot 16B ku Kampalamukadde okuliraana Klezia ya St. Matia Mulumba.
Oluvannyuma lw'ensala y'omulamuzi Bashaija n'awa n'ekiragiro okufumuula Atwooki ne munne Bernard Tumwesigire na buli muntu akolera mu kizimbe kino. Badayirekita ba poliisi nga baakulembeddwa Gen. Kale Kaihura nabo baatudde ne bategeeza Atwooki nti ekizimbe akibaddemu okumala emyaka 17mu bukyamu.
Kayihura yagasseeko n'omukuuku gw'ebbaluwa ng'alagira kamisona w'ekitongole kya poliisi ekikola ku nsonga z'ettaka, Charles Mutungi okuteeka ekiragiro kya kkooti mu nkola.
Oluvannyuma lw'okwebuuza, Mutungi yawandiikidde Dayirekita wa poliisi ya Kampala n'emiriraano, Frank Mwesigwa ebbaluwa ng'amulagira okuwa omuduumizi wa poliisi ya Kampalamukadde, Charles Nsaba okuwa bawannyondo ba kkooti obukuumi baddize Jaffer ekizimbe kye nga bakiggya ku Col. Atwooki Ndahura ne Bernard. S. Tumwesigire. Ku Lwokuna, poliisi yabukeerezza nkokola ne bawannyondo ba kkooti okuva ku kkampuni ya T/A Vimba Associates nga bakulembeddwaamu Apollo Ezama Olema ne balagira abaabaddeko okusibamu ebyabwe.
Ezama yagambye nti, basooka okwagala okuggya Atwooki mu kizimbe kino mu 2016 n'abayimiriza. Oluvannyuma, Jaffer yazze ku kizimbe ne bamukwasa ebisumuluzo by'ekizimbe n'ateeka n'omukono ku mpapula ezikakasa nti ekizimbe kimuddidde.