TOP
  • Home
  • Amawulire
  • BP Wilberforce Kityo Luwalira agguddewo ekkanisa ya St Luke e Bweyogerere

BP Wilberforce Kityo Luwalira agguddewo ekkanisa ya St Luke e Bweyogerere

Added 12th March 2017

BP Wilberforce Kityo Luwalira agguddewo ekkanisa ya St Luke e Bweyogerere

 Bishop Luwalira ng'aggulawo ekkanisa ya St Lukka  Bweyogerere

Bishop Luwalira ng'aggulawo ekkanisa ya St Lukka Bweyogerere

OMULABIRIZI we Namirembe Rt Rev Wilberforce Kityo Luwalira asabya abakulisitaayo obutabaga mateeka ku baweereza abapya ababa babawererezeddwa okubawereza kiyambe emirimu gye kkanisa okutambula obulungi.

Bp Luwalira ategeezezza nti abakulisitaayo bangi bwe bafuna omuweereza omupya bakitwalan nti be bamutegeerera olw’okuba yabasanze mu kifo ekintu ekireeta entalo wakati mu kkanisa.

Bino Bp Luwalira abyogeredde ku kkanisa y’obusumba bwe Bweyogerere  mu bulabirizi  bwe Namirembe eya St Luke bw'a abadde aggulawo ekkanisa y’obusumba ezimbiddwa abakulisitaayo mu busumba buno.

 

Yayongedde n'asaba abantu okukomya okubba ettaka lya bannaabwe nga bakozesa olukujjukujju ekintu ekirese abamu mu kubona bona ssaako abamu okuttibwa abo ababa bababbako ettaka.

Mu kusaba kwe kumu ,Bp Luwalira yasabye abagalana okukomya obwenzi kuba kino nakyo kireese ebizibu bingi mu maka omuli n’okufuna endwadde ez’enjawulo nga ziretebwa abagalana mu maka.

 

Asembyeyo ng’akutira abakulisitaayo okufaayo okutukuza obufumbo bwabwe kibayambe okubeera abatukuvu mu mpisa zonna ssaako okubeera mu bufumbo obwa weebwa omukisa okuva ewa katonda.

Ye abadde akulira omulimu gw’okuzimba ekkanisa Tom Ssenfuma Kakaba yategeezezza nti omulimu guno ogw’okugaziya baagutandika mu 2007 era nga  baakozesezza obukadde 450 era ng’eno etuuza abantu abasoba mu 500.

Mu kusaba kuno omusumba we Bweyogerere Rev Muyinda yebazizza nnyo katonda olw’omwana we okumaliriza emisomo gye mu bya mawulire ku ttendekero lya Uganda Chrisitian Univeristy ssaako okwebaza katonda olw’emyaka 25 gyamaze mu bufumbo ne mukayala we Annet Muyinda.

 

Okusaba kuno kwatandise ku ssaawa nnya ez’okumakya nga Bp Luwalira yeyakulembedde emikolo gy’okugiggulawo oluvannyuma okusaba ne kutandika.

Oluvannyuma lw’okusaba ,Bp Luwalira yasimbye ejjinja ku kkanisa eno oluvannyuma nasala keeki eyaawereddwayo abakulisitaayo okwebaza okuzimba ekkanisa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...