TOP

Famire ebanja Nambooze ereese bwino

Added 13th March 2017

Famire ebanja Nambooze ereese bwino

FAMIRE ekaayanira Betty Nambooze eyongedde obujulizi, okuli n’obuwandiike Patrick Nsubuga bwe yaleka kwe yasengekera abaana 13 b’alese ku nsi. Mu baana be yateeka ku lukalala kwe kuli ne Betty Namutebi nga ge mannya ge yali yawa Nambooze era waakusatu ku lukalala lw’abaana 13 Nsubuga be yaleka azadde mu bakazi ab’enjawulo.

Nsubuga eyafa nga January 2, 2013 yaleka akalaatidde ab’oluggya lwa Yowaana Ssennyondwa e Kasanje, Wakiso okukola ekisoboka okununula omwana (Nambooze) bamuggye mu Kkobe nnyina Justine Nakato Mawemuko “gye yamugaba mu bukyamu”.

Aba famire nga bakulembeddwa Ssenga w’abaana Margaret Namubiru (eyatuuma Nambooze erinnya ery’Emmamba) wamu n’omukulu w’oluggya lwa Ssennyondwa bagamba nti Nsubuga yabategeeza nga tannafa nti yakwatagana ne maama wa Nambooze mu 1967 ng’anobye ewa Peter Kayongo ow’e Namusera, Wakiso era baazaala omwana nga July 13, 1969 ne bamutuuma Betty Namutebi. Wabula oluvannyuma Nakato yaddayo mu ddya ewa Kayongo gye yali azadde abaana abaasooka.

Bagamba nti eby’embi Nakato yafa nga January 17, 2000 era yatuuka kufa ng’agaanye okuwa Nsubuga omwana kubanga omusajja yalagajjalira omwana n’atamuwa buyambi wadde okumuweerera era nnyina y’eyatobanga okunoonya fiizi wamu ne Kayongo.

Margaret Nanfuka nnamwandu wa Nsubuga eyasangiddwa mu maka Nsubuga ge yaleka e Ddikwe, Nakifuma yalaze akapapula bba ke yamulekera okuli amannya g’abaana bonna era Betty Namutebi waakusatu ng’addirira Godfrey Kiwanuka ne James Kakyu.

Yagambye nti: Nzijjukira mu 1988, Nambooze yajja awaka n’ambuuza nti, “Maama, taata akyanywa nnyo omwenge ng’edda? Ye aliwa? Ne muddamu nti “Taliiwo, ndowooza akyali eyo mu Bassenga bo! Yaddamu nti, “Taata yatugamba agenda kuva ku mwenge ka ng’ende musange.” Namubuuza nti “Tomaze kulya mmere, yiino eyidde?” Yanziraamu nti, “Nedda ka ng’ende.” Nanfuka yagasseeko nti:

Omwami bwe yakomawo n’antegeza nti omwana Namutebi (Nambooze) bw’amugambye nti omuzimu gwa Senga we Mary Nankya eyali amulagidde okumusikira bwe gumutawaanya era yali ayagala kuyambibwa, naye teyang’amba oba yamuyamba. Omwana Namutebi nti baali bamwongeddeko erya Nankya oluvannyuma lwa Ssenga we, Mary Nankya okumulonda y’aba amusikira, wabula mu kwabya olumbe nti Nambooze teyalinnyayo.

BAGENDE KU MUSAAYI GUSALEWO - BAZADDE Famire y'omugenzi Ssaalongo Ignatius Lumala ow'oku kyalo Nantabuulirwa we baaziika Nakato yagambye nti bwe wabaawo abakaayana, bayite mu mitendera emituufu, bagende ku musaayi (DNA) ekyo kiggwe.

Jennifer Nabisubi nnyina wa Nambooze omuto yategeezezza nti, Nambooze yazaalibwa ne bannyina babiri Kayiwa ne Mutumba mu kitaabwe Kayongo ow'Ekkobe era ffe gwe tumanyi.

Yagasseeko nti, eng’ambo mu bantu tezisobola kubulawo nti kyokka bbo nga famire, mukulu waabwe yatuuka kufa nga talina ky’abagambye ku famire ya Nsubuga. "Nambooze mwana yazaalibwa buzalibwa tasobola kumanya nti ono ye kitange oba oli era nnyina bw'aba yafa ng'amulaze nti Kayongo ye kitaawe naye gw'amanyi naye omusaayi gujja kusalawo eggoye." Nabisubi bwe yagambye.

Fatuma Nankya nga naye nnyina wa Nambooze omuto yagambye nti, emyaka 17 bukya Nakato afa, tabalabanga ku bantu bavudde mu famire ya Nsubuga. Nsubuga yali akola mu makomera nga yazimba e Seeta, Mukono.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...