TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi y'e Nkozi esiiwuuse empisa n'ekuba bannamawulire ba Vision Group

Poliisi y'e Nkozi esiiwuuse empisa n'ekuba bannamawulire ba Vision Group

Added 15th March 2017

Poliisi y'e Nkozi esiiwuuse empisa n'ekuba bannamawulire ba Vision Group

 Poliiisi ng'erwanagane ne munnamawulire wa Newvision ayitibwa Mathias Mazinga

Poliiisi ng'erwanagane ne munnamawulire wa Newvision ayitibwa Mathias Mazinga

ABASIRIKALE ba Poliisi e Nkozi basiiwuuse empisa oluvannyuma lw'okuva mu mbeera ne bakuba bannamawulire ababadde bazze okukwata ebifaananyi bw'amatikkira ga University y'e Nkozi.

Poliiisi ng'enduumirwa Moses Muhindo akulira Poliisi y'e Nkozi adduumidde basajja be ne bakwata Mathias Mazinga munnamawulire wa New vision ne Paddy Bukenya munnamawulire wa Bukedde abasangiddwa nga bakuba ebifaananyi ku mukolo gw'amatikkira.

 
Paddy munnamawulire wa Bukedde akolera mu bitundu by'e Mpigi era omukolo guno gwamusanze mu kitundu mwakolera ate ye Mathias Mazinga y'asinga okuwandiika emboozi z'eddiini ey'ekikatuliki eya yabadda atambudde ne ba Ffaaza abaabadde bagenze okwetaba ku mukolo wabula olwamulabye ng'atandise okukuba ebifaananyi ne bava mumbeera nga bwebamubuuza gy'abitwala.

Wadde nga yabalaze card ekakasa nti munnamawulire  baaganyi okumuwuliriza ne bagenda mumaaso n'okumuwalula ssaako n'okwonoona Camera ye wamu ne ya Paddy Bukenya zombi zoononeddwa

Aba Poliisi bansanze nkuba bifaananyi by'amatikkira ne bankwata ne banziza ebbali ne bambuuza gye nvudde ne nzigyayo card yange ne njibalaga bulungi nti ndi mukozi wa New Vision naye ekisinze okunneewuunyisa oluvannyuma lw'okubalaga card yange basigadde bagenda mumaaso n'okunkunya ssaako okuntulugunya wabula munnange akolera e Mpigi Paddy bwazze okuntaasa n'okubuuza ki ekigenda mumaaso abasirikale bataamaye butaami era ekivuddemu kwonoona Camera zaffe." Bwatyo Mathias Mazinga bwategeezezza.

Bbo abakulira ettendekero lino balabye embeera esajjuse kwekuvaayo okulaba ekibadde n'okukkakkanya embeera era ne beetondera nnyo bannamawulire bano abakubiddwa n'okuboonoonera ebyabwe.

Oluvannyuma Muhindo atwaliddwa ku e Mpigi n'aggulwako omusango gw'okkuba munnamawulire okumulumya ssaako n'okumwonoonera ebintu bye fayiro namba SD REF; 51/14/03/2017



More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...