TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaatemudde afande Kaweesi baatulaalise - Gen. Kayihura

Abaatemudde afande Kaweesi baatulaalise - Gen. Kayihura

"Abatemu baatulabula nti essaawa yonna poliisi bagenda kugikuba awaluma era batukubye awaluma naye luno olutalo tunaatera okululinnya ku nfeete.

 Kaweesi ng’ali ne mukyala we n’omu ku baana baabwe.

Kaweesi ng’ali ne mukyala we n’omu ku baana baabwe.

Bya JOSEPH MAKUMBI, JOSEPH MUTEBI, MARIA GORRET NAKAYAGA NE HENRY KASOMOKO

OMUDUUMIZI wa poliisi mu Gen. Kale Kayihura agumizza abakungubazi n'aba famire y'omugenzi Andrew Felix Kaweesi eyakubiddwa amasasi ng'ava mu makage e Kkulambiro ng’agenda ku mulimu ku kitebe kya poliisi e Naggulu n’agamba nti eyasse Kaweesi bamumanyi kuba ye yatta ne Joan Kagezi omu ku bawaabi ba Gavumenti abakulu.

Yagambye nti musajja mweru alina enkovu mu kyenyi era okusinziira ku bantu abaabaddewo nga Kaweesi akubwa amasasi, omuntu y'omu eyatta eyali omuwaabi wa Gavumenti mu musango gw'abatega bbomu e Lugogo, Joan Kagezi, yabaddeko ku batemu abaakubye Kaweesi.

Yagambye nti kino ky’ekibinja ekizze kitta Bamaseeka ne Maj. Kiggundu n’ategeeza nti abamu bazze babakwata era baatwalibwa mu kkooti ne bakkiriza nti kituufu be batta n’agattako nti ne bano bagenda kubakwata.

"Abatemu baatulabula nti essaawa yonna poliisi bagenda kugikuba awaluma era batukubye awaluma naye luno olutalo tunaatera okululinnya ku nfeete.

Kaweesi afudde nga muzira kubanga bw'obeera oyambadde ekyambalo kya poliisi obeera ku mulimu." Kayihura bwe yagambye.

Yagasseeko nti mu lutalo mubeeramu okufiirwa abasajja abalungi n’ategeeza nti enkya bayinza okukuba ye kyokka bakusigala nga balwana.

Yagambye nti, yabadde yaakamala okwogera naye ku makya ng'amugamba okugolola ensobi eyabadde ekoleddwa mu lupapula lw’amawulire kyokka waayise akaseera kano omuyambi we n’amutegeeza nti Kaweesi akubiddwa amasasi.

Yategeezezza nti, omuserikale w'ekitongole ekikuumi eky'obwannannyini eyabadde okumpi ye yakubidde mukamawe n'amutegeeza nti emmotoka ya Kaweesi bagikubye amasasi gwe yakubidde naye kwe kukubira omuyambi wa Kayihura eyadduse okutuuka we battidde Kaweesi.

Yagambye nti, Kaweesi y’abadde amulwanira entalo nga n'okumuleeta okufuuka omwogezi wa poliisi, baali mu katyabaga era abadde azikizza omuliro gwonna n'embeera enzibu ebadde eteganya poliisi.

Yasabye abakungubazi ne Bannayuganda okukwatira awamu okulwanyisa obumenyi bw'amateeka mu ggwanga n’agamba nti ne bannaddiini balina okusitukiramu okulaba ng'eggwanga liggwaamu ebikolwa eby'ekko.

MWENENYE MUDDE ERI OMUKAMA

Fr. Eddward Ssekalembe bwanamukulu w'ekigo ky'e Kigoowa Ntinda eyakulembeddemu Mmisa mu maka ga Kaweesi ku Lwokutaano yagambye abakungubazi nti basaanye okwenenya badde eri Omukama kubanga obudde bwonna tebamanyi kiyinza kubatuukako.

Yagambye nti Kaweesi w'afiiridde yabadde ayogeddeko naye emabega ng'abamanyiganye wabula amawulire ge yazzeemu okufuna nga gamugamba Kaweesi afudde.

Fr. Ssekalembe yayambiddwaako Fr. John Baptist Lutalo okuva e Kiyinda Mityana ng’ono kitaawe wa Nnamwandu.

ENTEEKATEEKA Z'OKUZIIKA

Olukiiko lwa famire olwatuddemu n’abanene mu poliisi lwatudde ne lukkaanya ku nteekateeka z'okuziika.

Avunaanyizibwa ku nkolagana ya poliisi n’omuntu waabulijjo AIGP Fred Yiga yategeezezza nti,

1 Ku Lwomukaaga kkampuni ekola ku by’okuziika egenda kuggyayo omulambo mu ggwanika e Mulago bagutwale mu maka gaayo bagukoleko n'okugwambaza.

2. Ku Ssande (leero) ku ssaawa 9:00 ez'olweggulo gugenda kutwalibwa mu Klezia ya St. Andrews e Ntinda basome Mmisa oluvannyuma lwa Mmisa bagutwale mu makaage e Kkulambiro gusuleyo.

3 Ku Mmande ku ssaawa 4:00 ez'oku makya, wagenda kubaayo Mmisa mu Litikko e Lubaga.

4 Oluvannyuma lwa Mmisa, omulambo gugenda kutwalibwa e Lwengo mu makaage ag’omu kyalo guseleyo.

5 Ku Lwokubiri ku ssaawa 6:00 ez'emisana, Mmisa endala egenda kusomebwa ate ku ssaawa 8:00 batandike olugendo lw'emagombe.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaserikale nga bawaayo ebyambalo.

Aba SPC bawaddeyo ebyambalo...

ABASIRIKALE 200  abaateekebwawo okuyambako mu biseera by'okulonda bazizzaayo ebyambalo bya poliisi abamu  nga...

Aba NUP nga bawaga e Kamwokya.

Aba NUP si bamativu ku miso...

ABAKULEMBEZE b'ekibiina kya National Unity Platform (NUP) bavuddeyo ku misolo emipya egiteekebwateekebwa gavumenti...

Zaake ng'ayogera e Kamwokya.

Omubaka Francis Zaake awera

Omubaka Francis Zaake akiikirira munisipaali y'e Mityana era nga ye mukulembeze w'abavubuka mu NUP, alojjedde Bannakibiina...

Kayongo ng'annyonnyola.

Nkyali mukulembeze w'akatal...

Abadde ssentebe w'akatale ka St.Balikuddembe, Godfrey Kayongo ategeezeza nti akyali mukulembeze w'abasuubuzi b'ekibiina...

Abakugu nga balaga ekyuma ekifuyiira n'okutta obuwuka bwa Covid 19.

Bakoze ekyuma ekifuyiira n'...

Abakugu mu bya tekinologiya okuva mu ggwanga lya Romania nga bali wamu n'ab'ekitongole kya Good Care baliko ekyuma...