TOP

Oulanya alangidde kkooti y'ensi yonna obusosoze

Added 24th March 2017

OMUMYUKA wa sipiika Jacob Oulanya alangidde kkooti y’ensi yonna okuba ne kyekubiira n’okutulugunya abakulembeze ba Africa n’agamba nti bw'etaakyuse mu nkola amawanga ga ssemazinga ono gajja kugivaamu geeteerewo eyaago.

 Oulanya (ddyo) n’abanene abalala mu lukung’ana

Oulanya (ddyo) n’abanene abalala mu lukung’ana

‘’Kkooti eno eyitiridde okutulugunya abakulembeze ba Africa era yeeyisizza ddala ng’ekyatwala mu maaso obufuzi bw’amatwale nga kino amawanga ga Africa galina okukirwanyisa. Bw’eneesigala ng’etulugunya bannaffe nga Kenya, Sudan ne Congo tujja kugivaamu," Oulanya bw’agambye.

Abadde ayogerera mu lukung’ana lwa Palamenti z’amawanga ga Africa, Carribian ne Pacific e Brussels mu Bubirigi n’agamba nti amawanga ga Africa gasalewo gave mu kkooti eno bw’enaasigala ng'egenda mu maaso n’okutulugunya abakulembeze baayo.

Oulanya agambye nti Uganda yeegatta ku kkooti y’ensi yonna okulwanyisa abajambula ba Kony be yali tesobola kukolako yokka.

N'ayongera nti amawanga amalala gaagyegattako olw’okulwanyisa abatyoboola eddembe ly’obuntu kyokka nti ekkubo kkooti eno ly’ekutte liraga nti yava dda ku mulamwa.

Yawadde eky’okulabirako nti Kenya y’emu ku nsi ezibonaabona olwa kkooti y’ensi yonna. Omukulembeze wa Kenya, Uhuru Kinyata  kkooti eno ekyamuwozesa ng’egamba nti yeetaba mu misango gy’okutyoboola eddembe ly’obuntu.

Oulanya yawadde omukago gwa Africa amagezi okweteerawo kkooti yaabwe.

Aboogezi abalala okuva mu mawanga amalala nabo beegasse ku Oulanya ne bagamba nti kyekiseera Africa okusitukiramu okulaba nga kkooti eno tetyoboola mawanga gaayo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu