TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Owapoliisi abadde akola ne Kaweesi alaze engeri gye babadda babalaalikamu okubatta

Owapoliisi abadde akola ne Kaweesi alaze engeri gye babadda babalaalikamu okubatta

Added 25th March 2017

Owapoliisi abadde akola ne Kaweesi alaze engeri gye babadda babalaalikamu okubatta

 Omugenzi Felix Kaweesi

Omugenzi Felix Kaweesi

OFIISA wa poliisi abadde akola ne Andrew Felix Kaweesi aleese obujulizi omuli n’obubaka ku ssimu ng’abatemu beewera okutta!

Obubaka obumu busoma nti, “Ne bw’onaabeera ne ba ‘Esikooti’ (abakuumi) bameka, ssebo tulina obuyinza obukuba mmotoka yonna, mpozzi babawe Mmamba.” Obubaka obulala busoma nti, “Mbasibirako, temukyasobola kutuuka mu December nga temunnafa; tumaze okufuna obakafulu.” Obubaka buno abatemu babadde babuweereza ku masimu ga ba ofiisa ba poliisi era ne Kaweesi babadde babumusindikira nga bamutegeeza nti asigazzaayo ennaku mbale bamutte.

Kaweesi yattiddwa ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde emisana ttuku nga yaakava mu makaage e Kulambiro okumpi n’e Kisaasi mu Kampala.

Baamukubye amasasi 30 ne bamuttirawo n’omukuumi we Kenneth Erau gwe baakubye amasasi 32 ne ddereeva Godfrey Wambewo gwe baakubye amasasi munaana era bonna ne babaleka nga bamaze okukakasa nti bafudde.

BALINA ABABAWAGA MU POLIISI

Ofiisa ono ataayagadde kwatuukirizibwa yagambye nti abanoonyereza ku batemu bano balina n’okunoonyereza gye baggya amaanyi.

Yagambye nti omutemu okwewerera omuserikale tekitera kubeera kyabulijjo, ate okwewera okwo bwe kutuukirira emisana ttuku, kyongera okukakasa nti omutemu oyo tali yekka.

Yannyonnyodde nti waliwo abazigu be bazze bakwata era abamu nga bakozesa mmundu kyokka ne bayimbulwa mu ngeri eziriko ebibuuzo era okubalemerako kye kimu ku bibadde bibazaalira obuzibu.

Yayongeddeko nti abamu ku bazigu abo bali mu bibinja ebipangisibwa okutta abantu era basobola okukozesebwa omuntu yenna akulinako akakuku ne bakutta, kubanga n’emmundu bazirina.

Yagambye nti ebya Kaweesi byabakubye wala kubanga y’abadde abagumya ku bubaka buno ng’abategeeza lunye nti: “Tetuyinza kukkiriza bamenyi b’amateeka kututiisatiisa tuve ku kye tuteekeddwa okukola.” Obubaka buno bwakwasibwako n’abavunaanyizibwa ku kulondoola eby’amasimu ne yintaneti (Cyber Crime), kyokka baakizuula nti ennamba kwe babuweerereza teyawandiisibwa era bakyafuba okuzuula we batandikira okuyigga abatemu.

Obubaka buno baatandika okubuweereza mu July wa 2014 era bweyongera nnyo ku nkomerero y’omwaka oguwedde ate ne kisukka ku ntandikwa y’omwaka guno.

Yagambye nti ebigambo Pulezidenti Museveni bye yayogedde mu kukungubagira Kaweesi nti poliisi yasenserwa abamenyi b’amateeka, tebyabeewunyisizza kubanga baludde nga bakiraba.

Museveni yayogedde nnyo ku kitongole kya CID ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango nti kye kisingamu obuzibu, kyokka ofiisa ono yagambye nti ekitongole ekirala kye balina okukubamu ttooci ky’ekya Flying Squad kubanga kyayingiza abantu abaggyibwa mu bumenyi bw’amateeka, wabula abamu baasigala bakyawuliziganya n’abazigu.

Bukedde wa July 30, 2014 yafulumya eggulire ery’olukalala lw’abaserikale ba poliisi abazigu lwe baakola nga beewera nti balina okubatta era ku lukalala luno, Kaweesi ye yali akulembedde. Abantu abasukka mu 10 be baakakwatibwa ku by’okutemula Kaweesi era kuliko n’abaserikale ba poliisi.

Abaakwatiddwa bakuumirwa Nalufenya nga bwe bongera okubakunya.

ABAKUNGU BA POLIISI BABONGEDDE OBUKUUMI

Oluvannyuma lw’okutemulwa kwa Kaweesi, poliisi eyongedde obukuumi ku bakungu baayo naddala 22 ababadde ku ddaala erimu ne Kaweesi erya AIGP.

Buli omu kati awerekerwa kabangali erikoabaserikale. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga omuggya AIGP Asan Kasingye yagambye nti basazeewo okuwa abaserikale ab’amaddaala aga waggulu obukuumi obw’amaanyi kubanga be basing okutiisibwa, kyokka n’agattako nti n’abamadaala aga wansi abalina okutiisibwa baakuweebwa obukuumi obumala.

Kasingye yagambye nti bagenda kukola enteekateeka okufuna emmotoka ez’emibiri emigumu ezitayitwamu masasi mangu kubanga singa Kaweesi gye yabaddemu osanga yandisobodde okwerwanako.

Yayongeddeko nti mu ngeri y’emu poliisi egenda kwongera ne ku bungi bwa bambega ba poliisi mu ggwanga n’ebyuma ebikozesebwa nga kkamera okwongera okulaba nga bakendeeza ku bumenyi bw’amateeka kyokka n’akkaatiriza nti obwesige mu bantu ababawa amawulire bulina okukolwako kubanga abamenyi b’amateeka babeera mu bantu era bangi babeera babamanyi.

NNAMWANDU WA KAWEESI ALI MU MBEERA NNUNGI

Ku makya g’Olwokutaano abakungu mu poliisi nga bakulembeddwa AIGP Fred Yiga baagenze mu ddwaaliro e Nakasero okukukulisa Annet Nabwami nnamwandu wa Kaweesi eyazadde omwana omulenzi.

Yalongooseddwa ku Lwakuna ku ssaawa 7:00 ez’emisana. Nabwami yabadde mu mbeera nnungi kyokka abasawo baamulagidde atwale ekiseera ng’awummudde olw’embeera esoomooza gye yayiseemu nga bba Owapoliisi abadde akola ne Kaweesi alaze ababadde babalaalika okubatta afudde ebula ennaku nnya zokka azaale.

Kyokka Nabwami yasabye aleme kukubwa bifaananyi n’eby’omwana omulenzi gwe yazadde wabula abasawo ne bakakasa nti bombi omuzadde n’omwana bali mu mbeera ewa essanyu. Nabwami yeebazizza abantu bonna mu ggwanga lyonna n’ebweru waalyo abaamusabidde n’asumulukuka.

Yiga naye yeebazizza abantu olw’omukwano gwe balaze omugenzi Kaweesi ne famire ye era n’abasaba okusigala nga babasabira n’okubawa obuwagizi bwonna. Yasabye n’abalina obweyamu bwe baakola eri famire okubutuukiriza, abaana basobole okusoma n’okwetuusaako ebyetaago mu bulamu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasasa ng'ali mu ddwaaliro e Masaka.

Kasasa ebbanja lw'eddwaalir...

Omuyimbi Disan Kasasa adduse ku kitanda ayimbire Mukasa awone ebbanja ly'eddwaaliro. Omuyimbi ono era omuzannyi...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka e Sironko gye yasisinkanidde abakulembeze ba NRM okuva e Sironko ne Bulambuli ku ssomero lya Masaba SSS.

Museveni asuubizza okuyamba...

PULEZIDENTI Museveni asuubizza okussa mu bajeti y'eggwanga ssente ez'okudduukirira abasuubuzi ne bannannyini bizinensi...

Bobi wine ng'atambula n'abawagizi be e Nakasongola.

Abawagizi ba Bobi Wine aban...

Bobi Wine n'abawagizi batabuse ne poliisi oluvannyuma kw'okubawa ekifo ekyewala okukubiramu kampeyini olubigaanye...

Abakugu nga bakebera abavubuka.

Abavubuka babaleetedde akuu...

ABASAWO okuva mu ddwaaliro ly'e Kisugu n'abakungu mu kitongole kya Amerika ekya PEPFAR ne gavumenti batongozza...

Bazadde ba Amos Ssegawa 15, okuli Hajarah Nakitto ne taata we omuto Meddie Ssemugenyi nga bannyonnyola ow’akakiiko k’eddembe ly’obuntu Juliet Logose engeri gye baatemuddemu omwana waabwe.

Be battidde abantu baabwe m...

MAAMA w'omuyizi wa Lubiri SS- Buloba, Amos Ssegawa 15, eyakubiddwaa essasi ng'ayita mu kibuga wakati mu kwekalakaasa...