TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kayihura akoze enkyukakyuka mu baserikale ba poliisi

Kayihura akoze enkyukakyuka mu baserikale ba poliisi

Added 25th March 2017

Kayihura akoze enkyukakyuka mu baserikale ba poliisi

 Julius Luyima kati y’akulira poliisi y’ebidduka ku CPS.

Julius Luyima kati y’akulira poliisi y’ebidduka ku CPS.

OMUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga, Gen. Kale Kayihura akoze enkyukakyuka mu baserikale 48, n’addira bana okuva mu kitongole ky’ebidduka n’abazza mu kitongole ky’ebikwekweto.

Mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa poliisi nga February 23 nga kiriko omukono gw’omumyuka wa Kayihura, Martin Okoth Ochola, abaserikale abaggyiddwa mu kitongole ky’ebidduka kuliko ASP Moses Ssonko abadde e Mukono ng’ono yasindikiddwa e Bundibudyo nga OC Station, ASP Hussein Ssekalema yaggyiddwa mu kitundu kya Greater Busenyi n’atwalibwa okubeera OC Station w’e Kisoro, ASP Sam Kaacu yaggiddwa e Mukono n’asindikibwa okukulira poliisi y’e Bunagana, ASP Ivan Barasa yaggyiddwa ku Jinja Road n’atwalibwa okukulira poliisi y’e Kyaka mu Kisoro.

Mu nkyukakyuka zino, Gen. Kayihura aliko abaserikale be yasuumusizza n’abakwasa ofiisi ezisinga kw’ezo mwe babadde bakolera nga mu bano kuliko ASP Ruth Kyobutungi abadde akulira poliisi y’ebidduka ku Old Kampala n’amutwala okukulira poliisi y’ebiddika mu kitundu kya Katonga, ASP Justine Opus yaggyiddwa ku poliisi ya CPS n’atumibwa okukulira poliisi y’ebidduka mu kitundu kya Rwizi (Great Mbarara).

ASP Godfrey Mwesigye abadde akulira poliisi y’ebidduka ku Jinja Road yatwaliddwa okukulira ofiisi y’emu mu kitundu kya Elgon, ASP Steven Sande yaggyiddwa ku Kira Road n’atwalibwa okukulira poliisi y’ebidduka mu kitundu kya Wamala.

Abalala kuliko Julius Luyima nga yakakasiddwa okukulira ofiisi y’ebidduka ku CPS, ASP Denis Kiwanuka kati y’akulira poliisi y’ebidduka e Kawempe, ASP Dickens Tweheyo yakakasiddwa okukulira poliisi y’ebidduka ku Old Kampala, ASP Adriane Kaganda yaggyiddwa ku Kira Road n’afuulibwa akulira poliisi y’ebidduka e Nansana.

ASP Yolamu Tumwebaze yaggyiddwa ku Kira Road n’atwalibwa okukulira poliisi y’ebidduka e Wakiso, ASP Zuheilo Ssemukaya yaggyiddwa e Ntebe n’atwalibwa okukulira poliisi y’ebidduka mu Divizoni y’e Kira, ASP Justus Habyara yaggyiddwa e Kajjansi n’asindikibwa e Kira Road okukulira poliisi y’ebidduka, ASP Tom Mpabaisi yaggyiddwa ku CPS n’atwalibwa e Wandegeya ne ASP Bruce Oinebye n’akwasibwa ofiisi y’ebidduka n’abalala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...