TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ekyalo kiramba kitta kitya omuntu ne wabulawo akwatibwa?

Ekyalo kiramba kitta kitya omuntu ne wabulawo akwatibwa?

Added 26th March 2017

Ekyalo kiramba kitta kitya omuntu ne wabulawo akwatibwa?

OFIISA mu magye bw’atuuka okuttibwa mu kutwalira amateeka mu ngalo; omanya ekizibu kino kirinnye enkandaggo! Baamala kumutta, okwetegereza nga ne mu kiwato alinamu piisito! Lt. Col. Keba Netekele baamuttira Mukono ku dduuka lya Mobile Money. Yafuna obutakkaanya n’omukazi wa Mobile Money mu katawuni k’e Nantabuulirirwa nga December 24, omwaka oguwedde.

Omukazi yateebereza Lt. Keba nti y’omu ku babbi abalumba amaduuka ga Mobile Money ne banyagulula era omukazi olwasiikuula enduulu, aba bodaboda ne bamugwako ekiyiifuyiifu ne bamukuba okutuusa lwe baamutta.

Wadde yalina piisito yakuuma obuntubulamu n’atagiggyaayo ng’alowooza bw’anannyonnyola abantu banaakitegeera nti muntu wa buvunaanyizibwa atalina mutawaana.

Baagaana okuwuliriza era omu bwe yamufubutuka emabega, yamukuba ekiyinja ku mutwe n’agwa wansi ng’awunze. Awo bonna we baatandikira okumukubira okukkakkana nga bamusse!

Netekele yali mujaasi wa UPDF ng’akolera mu kitongile kya Operation Wealth Creation (OWC) e Mubuku wabula we baamuttira yali awummudde kyokka ng’asigazza piisito.

Wadde yalina n’ekyambalo ky’amagye wabula teyateranga kukyambala. Bwe baamala okumutta baakitegeera nti yali apangisizza akasenge ka loogi e Seeta mwe yava okugenda okuggya ssente ku Mobile Money.

Omu ku b’ebyokwerinda e Mukono yagambye nti, Lt. Col. Keba yagenda ku Mobile Money ng’ayagala kuteeka ssente 500,000/- ku ssimu era omukazi wa Mobile Money bwe yazissaako; Keba agenda okukebera mu nsawo y’empale nga ‘waleti’ omwali ssente agyerabidde mu loogi.

Yagezaako okugamba omukazi asigaze essimu okugenze ssente, agende mu loogi mwe yali alese ssente, omukazi n’atabuka ng’agamba nti buno bukodyo bw’ababbi era kwe kukuba enduulu. Ekyewuunyisa, bonna abaakwatibwa baayimbulwa ng’abooluganda lwa Lt. Keba bakaluubiriddwa okutambulanga okuva e Masindi gye babeera okugoberera omusango e Mukono.

Abaserikale ku poliisi e Mukono bagamba nti omusango gukyaliwo wabula abaakwatibwa baayimbulwa ku kakalu ka poliisi ng’okunoonyereza bwe kukolebwa.

EYALI ASENGUKA NAYE BAAMUTTA BAMULUMIRIZA BUBBI

Enfa y’omuvubuka Gerald Kisaakye Luweero 23, nayo yannyogoza abooluganda lwe. Baamuttira Maganjo B ku luguudo lw’e Bombo. Kisaakye eyali amanyiddwa nga Kiisa yattibwa ebbiina ly’abantu ku Lusooka Omwaka guno 2017.

Jjajjaawe omukadde Maria Nakirwadde, omutuuze w’oku Maganjo mu zooni B agamba nti muzzukulu we ono azaalibwa muwala we Sarah Nakiyingi ali ebweru w’eggwanga ku kyeyo nga ekyamutwala kunoonya ssente ziweerera mutabani we Kisaakye asobole okusoma n’okubeera mu bulamu obweyagaza.

Laba abatuuze bwe bamutta nga bamuteebereza okubeera omubbi! Kisaakye yali ayingidde yunivaasite e Makerere wabula yafunamu ekizibu ku mutwe era n’atandika okukola ebintu ebitakkirizika omuli n’okuyuzaayuza ebitabo bye byonna n’abikumako omuliro.

Oluvannyuma okusoma yakuvaako n’atandika kusala CD era ne yeepangisiza. Nakirwadde yattottodde nti, Ssekukkulu ya 2016 yagiriira mu ssanyu ne muzzukulu we Kisaakye ku lunaku Lwomukaaga ng’enkeera lumu oluyingira omwaka omupya, Gerald teyalinnyako wa jjajjaawe ekyamuleetera okweraalikirira.

Yagasseeko nti: Nasiiba mmunoonya kyokka ssaamulaba. Essaawa zaali ziyingira ttaano ez’ekiro ky’olwo Olusooka muliraanwa n’ankonkona n’ antegeeza Gerald bwe yali alabise ng’atudde mu luggya lwange.

Nnaggula oluggi era amaaso gaggukira ku Gerald.

ABANTU TEBAKYESIGA BITONGOLE BIKWASISA MATEEKA

 

Laba Omwogezi w’essiga eddamuzi, Elias Kisawuzi alaze ebivuddeko okutwalira amateeka mu ngalo n’ebirina okukolebwa okumalawo ekizibu kino.

Yagambye nti wateekwa okubeerawo okugogola n’okweyubula okw’amaanyi mu bitongole ebivunaanyizibwa ku kukwasisa amateeka kikomyewo essuubi mu bantu.

Muno mulimu poliisi, ofi isi y’abawaabi ba Gavumenti, kkooti n’ekitongole ky’amakomera. Ebivuddeko okutwalira amateeka mu ngalo okweyongera:

Abantu obutakyesiga bitongole bikwasisa mateeka n’essuubi okufuna obwenkanya mu bitongole ebyo ne likendeera.

Enguzi mu bakozi abamu ab’ebitongole ebirina okukwasisa amateeka ereetawo endowooza eri mu bantu nti, “Omwavu tasinga musango”.

Abantu obutamanya mateeka n’enkola yaago ne bagalaba ng’ageekooloobya n’okubamalira obudde. Mu butamanya mateeka, okweyimirirwa ku poliisi oba mu kkooti bakiraba ng’omusango oguwedde.

Amateeka amakadde ageetaaga okukyusa kyokka ne kitakolebwa mu budde; okugeza bwe baggyawo ery’obwenzi eryaliko ekibonerezo kya 600/- tebazzaawo tteeka ddala ate ng’ekimu ku bivaako okutwalira amateeka mu ngalo.

Amateeka amalala nago makadde nnyo okugeza ery’eddogo teritegeerekeka kubanga lyogera ku muntu akozesezza amaanyi ag’enjawulo naye teriraga ani alina bukugu obunnyonnyola amaanyi ag’enjawulo ago ate nga n’abalamuzi eddogo tebalimanyi; okukkakkana abantu abalowooza nti balogebwa bamaliriza baagala kubikolako mu ngeri zaabwe.

Ku ttaka nawo waliwo obuzibu era bangi battiddwa, abalala babatuusizzaako ebisago ng’omutawaana guva ku nkaayana za ttaka.

Emisango gy’ettaka gikandaalirira nnyo kubanga gyasigalira kkooti zokka, obukiiko obwali butawulula enkaayana z’ettaka omuli n’obwa LC tebukyaliwo.

Kkooti emu eyinza okufuna emisango gy’ettaka 3000 omwaka ng’egisobola okumalirizibwa giyinza kubeera nga 150.

Waliwo n’abakulembeze abakyamya abantu olw’okufuna obululu n’obawulira nga baduumira abantu nti bwe bakwata omubbi mu kitundu bamutte. Kino kya bulabe nnyo era abakulembeze abo beetaaga kuvunaana kukuma mu bantu muliro; kyokka ndaba poliisi tebafaako ebaleka bulesi.

Enkola y’okuwozesa abantu gye tutambulirako nkadde nnyo etwala obudde bungi nnyo, abantu ne beewuuba nnyo mu kkooti ne beekyawa. Mulimu n’abakozi abagayaavu; abantu ne bajja ku kkooti nga ofi isa wa poliisi oba omulamuzi taliiwo.

EBIRINA OKUKOLEBWA

Okusomesa abantu amateeka bamanye enkola yaago.

Okubasembereza ebitongole ebivunaanyizibwa ku mateeka; poliisi ebabeere kumpi, kkooti ne ofi isi z’abawaabi ba gavumenti nazo zongerweko obungi ziriraane abantu baleme kukaluubirizibwa nnyo.

Okukyusa enkola y’amateeka bw’etambuzibwa kubanga erimu akasoobo. Twetaaga okugikyusaamu oba okwettanira enkola empya ng’ey’okutabaganya kubanga eyo etwala obudde butono.

Okwongera ku bungi bw’abavunaanyizibwa ku kukwasisa amateeka mu poliisi, ekitongole ekiramuzi, abawaabi ba Gavumenti n’abaserikale b’amakomera. Kisawuzi yagambye nti okutwalira amateeka mu ngalo tekikoma ku kusaanyaawo bulamu n’okukosa abantu n’ebyabwe wabula kikotoggera n’enkulaakulana kubanga ne bayinvesita batya okukolera emirimu mu ggwanga eritagoberera mateeka.

‘Poliisi y’etusibyeko okutwalira amateeka mu ngalo’

Maj., David Matovu

 

RDC wa Mukono, Maj. David Matovu eyalwanako ku musango gwa Ssenfuma Bwete, eyali omwami w’eggombolola y’e Kawolo eyattibwa mu kutwalira amateeka mu ngalo nga bamuteebereza okubba omwana, yagambye nti, ekizibu kyonna kiva ku kitongole ekiramuzi n’akawaayiro mu Ssemateeka akawa abazzi b’emisango ebbeetu.

Yagambye nti, poliisi ebadde efubye okukola omulimu gwayo naye mu kitongole ekiramuzi mulimu abantu abakyamu abatafaayo ku bulumi bw’abantu ababa babbiddwaako ebyabwe, abazzi b’emisango ne batasibwa wadde olunaku ne badda ku byalo ne bayinaayina.

“Kati abantu abaanyiziddwa obeera obasuubira kukola ki ng’omuntu eyakwatiddwa n’atwalibwa azze ku kyalo ayinaayina? Mmu kulaba kwange ekitongole ekiramuzi ky’ekivumaganya Gavumenti ne kyongera n’okwekyaya abantu ne basalawo okudda mu by’okutwalira amateeka mu ngalo.

” Matovu bwe yategeezezza. Yagambye nti ekiteekeddwa okukolebwa, abazzi b’emisango bwe baba bakwatiddwa, kisaanye basooke baggalirwe okumala ekiseera nga tebannaweebwa kakalu ka kkooti obusungu bw’abantu ku byalo ne busooka bukkakkana, kyokka kino abalamuzi tebakirowoozaako badda ku kimu, “etteeka ligamba ki?” Ayagala abalamuzi beetereeze, okulya enguzi mu kitongole kukendeezebwe amateeka galamule abantu ate n’abalamuzi bayambe abantu aba wansi okumalawo enjogera eri mu bantu nti: Omwavu tasinga musango

Ku kyalo kiramba poliisi yalemwa okukwatayo yadde omuntu omu

Bwe yandaba n’akwata ku mumwa mu ngeri y’okunsirisa ng’alinga alina gw’atayagala kuwulira bye twogera. Nnamwekubako ambuulire ky’abadde nga yeeyongera kumpenyaako mmuviire.

Nnayingira mu nnyumba nga nkakasizza nti yaliko ekikyamu ku mutwe ne nkubira bakojjaabe era ne tukkaanya enkeera atwalibwe mu ddwaaliro ly’abalwadde b’emitwe. Bwe yava awo yatuukira gye yali asula n’ategeeza baliraanwa nga bwe yali akooye obupangisa nti era yali agenda kutwala ebintu bye mu nnyumba ye empya nnyina gye yali amuzimbira.

Yatandika okusomba ebintu ng’abiggya e Maganjo mu Zooni B ng’abitwala e Katooke mu zooni emanyiddwa nga Kisimu we yasanga ennyumba etennaggwa kuzimbibwa n’abikuηηaanyiza mu muzigo ogumu ogwali omuggule.

Mu bintu bye yasomba mwalimu ttivvi, ekiwempe ekizungu, obutambi (CD)ne bulangiti ye. Omukadde agamba nti omu ku baliraanwa abaali okumpi ne Kisaakye we yattirwa yamutegeeza nti mu matumbibudde Kisaakye yakonkona omu ku basula okumpi ne we yattirwa ng’amusaba ekibiriiti.

Teyaggulawo naye bwe yayisa amaaso mu ddirisa n’alaba entwaala y’ebintu Kisaakye gye yali akuη− ηaanyirizza mu kiyumba n’alaya enduulu ayaleeta ab’omuliraano n’abategeeza bwe bazindiddwa agabbi. Kisaakye yabeegayirira nga bw’abannyonnyola ebintu bwe byali ebibye nga beyongera kumukuba okutuusa lwe yafa omulambo ne bagukulula ne basuula mu mwala.

Nakirwadde agamba nti talina ssanyu ku ngeri poliisi gy’ekuttemu ensonga y’enfa ya muzzukulu we kuba wadde Kisaakye we yattirwa mu kitundu ekijjudde emiriraano, poliisi yalemwa okufuna abajulizi abamala.

Agamba nti okuva Kisaakye lwe yafa baakwatayo abantu babiri kyokka nabo tabanyi mannya wadde okumanya gye baabasibira. Omusasi wa Bukedde bwe yatuuse ku poliisi y’e Katooke baamujulizza Kawempe ku kitebe.

Akulira okunoonyereza ku poliisi e Kawempe, Ruth Atwiine yagambye nti lipoota eraga nti Kisaakye yattibwa ogubinja gw’abantu abaamulowooza okuba omubbi kyokka abantu abo tewali amanyi gye baalaga.

Yagambye nti Poliisi ekyakola butaweera okubazuula bavunaanibwe mu mbuga z’amateeka. Yagambye nti n’abantu ababiri abaali baakwatiddwa okuyambako mu kunoonyereza tebaalina kye bamanyi era ne bayimbulwa ku kakalu ka poliisi.

Yalabudde abantu okukomya okutwalira amateeka mu ngalo kubanga abantu bangi bafi ira bwereere ate abalala ne baboonoonera ebyabwe. Fayiro ku kutta Kisaakye eri ku nnamba 09/02/01/2017 kyokka tekuli avunaanibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Ronald Kyobe ng'alaga emmwanyi ze. Ebifaananyi bya Ssennabulya Baagalayina

Abalimi b'emmwanyi e Lwaben...

ABALIMI b'emmwanyi mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu kwe basinzidde okusaba Gavumenti nti tekoma kubakunga wazira...