TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bukedde TV ekutudde ddiiru ey'okuyamba abawala abafuna embuto

Bukedde TV ekutudde ddiiru ey'okuyamba abawala abafuna embuto

Added 26th March 2017

Bukedde TV ekutudde ddiiru ey'okuyamba abawala abafuna embuto

 Ronald Kaggwa omumyuka w’akulira Bukedde TVI ng’akwasa Ambassador Nakajugo endagaano gye baataddeko emikono.

Ronald Kaggwa omumyuka w’akulira Bukedde TVI ng’akwasa Ambassador Nakajugo endagaano gye baataddeko emikono.

BUKEDDE TV ekwataganye ne Ambassador w’abakyala n’abawala mu Uganda, Esther Nakajugo mu kaweefube w’okulaba ng’omuwendo gw’abawala abatanneetuuka okufuna embuto gukka mu ggwanga. Ambassador Nakajugo y’alina engule ya Bukedde TV1 eya ‘Woman Achiever’.

Yafuna ekifo e Kabalagala n’azimbako ekifo abavubuka we bakeberebwa endwadde n'okusomesa abawala ku kabi akali mu kufuna embuto ze bateeyagalidde era Minisitule y'ebyobulamu n’emukakasa ku bwa Ambassador w'abakyala n'abaana.

Akutudde ddiiru ya mwaka mulamba nga balaga abalabi ba Bukedde TV1 obulamu abaana abawala mu byalo bwe bayitamu abamu ekibawaliriza okufuna embuto olw’okwagala ebyetaago eby’enjawulo.

Akulira embyempuliziganya mu ofiisi ya Ambassador w’abakyala n’abawala, Wilson Jaga mu lukiiko mwe yasisinkanidde omumyuka w’akulira Bukedde TV, Ronald Kaggwa ku kitebe kya Vision Group efulumya ne Bukedde yategeezezza nti enkolagana eno ne Bukedde TV1 bagiyise ‘Saving Innocence Challenge’ okuyamba abawala mu byalo.

Baalonzeeyo amasomero 10 agaasinga okukola mu Uganda nga buli ssomero baggyeeyo abawala basatu abagenda okugenda mu masomero g’ebyalo okusomesa abawala ku bintu eby’enjawulo ebikwata ku bulamu bwabwe omuli n’okwekolera ‘paadi’ ezikozesebwa omulundi ogusukka mu gumu.

Omwaka oguwedde kino baakikola mu disituikiti y’e Gomba gye baasanga ng’abawala bafuna embuto olw’abalaalo abatunda ente e Maddu ne basendasenda abawala.

Baazuula ng’ebitundu 53.4% be bafuna embuto mu Gomba. Mu mwaka guno bagenda Kalangala gye baazudde nti abavubi be basinze okufunyisa abawala embuto nga kiva ku byetaago era nga bano babawa byennyanja ne babakozesa.

Abawala abasatu abalondeddwa mu buli ssomero baakusomesa abawala mu masomero g’e Kalangala. Ambassador Esther Nakajugo yategeezezza nti baagala okulaba ng’omuwendo gw’abaana abafuna embuto gukendeera ng’omwaka 2020 tegunnatuuka.

Ye Ronald Kaggwa yategeezezza nti omwaka gwe baakoleddeko endagaano gunaagenda okuggwaako ng’abawala bangi mu byalo bakyuse n’asaba Nakajugo okufaayo okuyingiza n’abalenzi mu nteekateeka zino kuba buli ludda lunyigirizibwa.

Yeyeamye okulaga ebintu byonna ku ntimbe za Bukedde TV1 ebinaaba mu masomero ag’enjawulo mu disitulikiti y’e Kalangala.

Amasomero agaggyiddwaamu abaana kuliko; St Mary’s College Lugazi, Mt. St Henry’s College Namagunga, Naalya S.S, Uganda Martyrs Namugongo, Trinity College Nabbingo, Princess Diana High School e Munyonyo, Seeta High School, Buddo S.S, St. Joseph Nsambya, Kings College Buddo ne Nabisunsa Girls.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...

Katikkiro, Charles Peter Mayiga ng’aliko by’ayogera ne Emmanuel Katongole mu kusabira Kitaka e Lubaga.

Kabaka atenderezza emirimu ...

SSAABASAJJA Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi atenderezza emirimu egikoleddwa Francis Xavier Kitaka eyafa...

Kyagulanyi ne Kibalama lwe baatongoza ekibiina kya NUP.

Bwino omulala ayiise ku bya...

BWINO omulala ayiise ng’abaali bakulira ekibiina kya NUP okuli eyali Pulezidenti waakyo, Moses Nkonge Kibalama...

Bambega ba poliisi bazizza Nuwashaba e Masaka gye yasaliddeko omwana Kyamagero omutwe.

Ssenga Meran Namatovu akwat...

EKITONGOLE ky'amagye ekikessi kikutte omukazi ateeberezebwa okupangisa omuvubuka eyasazeeko omwana omutwe n'agutwala...

Omugenzi Kaweesi

Munnamagye aleese bwino ku ...

MUNNAMAGYE eyadduka ayogedde ebyama ku batta eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi ne Joan Kagezi amagye...