TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi ezze bukubirire okutaasa omukyala abadde agajambulwa Abachina

Poliisi ezze bukubirire okutaasa omukyala abadde agajambulwa Abachina

Added 28th March 2017

Poliisi ezze bukubirire okutaasa omukyala abadde agajambulwa Abachina

 Omusirikale ng'agezaako okuttaanya ensonga z'obulumbaganyi

Omusirikale ng'agezaako okuttaanya ensonga z'obulumbaganyi

Bya Martin Kizza

POLIISI ye Nateete edduse bukubirire okujja okutaasa omukyala abadde alumbiddwa Abachina ababadde bataamwe ng'engo nga baagala ku mugajambula olwokuyiwa kasasiro ku kikomera kyabwe.

 

Akasambattuko kano kabaddewo leero ku kyalo Kabale mu division y'e Lubaga abakuumi ba kampuni y'Abachina ensimi y'omusenyu emannyiddwa nga QQ OCUVA bwe baggyiddeyo omukyala Robina Tusuubira emmundu nga baagala ku mukuba masasi olw'okusanga ng'ayiye kasasiro ku kikomera kyabwe.

 

Okusinziira ku Robinah agamba nti Abachina bano baludde nga bamutulugunya nga ne gye buvuddeko baatakula amasannyalaze ne gacankalana gonna okukakkana nga gonoonye ebintu bye wabula bwe yabasaba ssente okuddaabiriza ebintu bye eby'oonooneddwa tebaamuwa wadde ekikumi.

 

Poliisi olutuuse mu kifo kino ekutte maneja wa Kampuni eno n'atwalibwa ku Poliisi e Nateete era olutuusiddwa ku Poliisi ategeezezza nti bwe kibeera nga kituufu nti omukyala ono alina okwemulugunya atwale omusango mu kkooti awawaabire kampuni era oluvannyuma akutte akakadde k'ensimbi kamu n'akawa omukyala ono asobole okuddaabiriza ebintu ebyayonoonebwa Abachina.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...