TOP
  • Home
  • Agawano
  • Bannayuganda babiri beesoze eza World Championships

Bannayuganda babiri beesoze eza World Championships

Added 29th March 2017

NG’OGGYEEKO okuba nti abaddusi mu mpaka za IAAF World Cross Country Championships ezaakommekereza ku Ssande e Kololo baabadde balwanirira ssente n’emidaali baabadde era batunuulidde empaka za World Championships ezinaayindira mu kibuga Londona mu August w’omwaka guno.

 Timothy Toroitich

Timothy Toroitich

Bannayuganda babiri be baasobodde okufuna tiketi ebatwala mu mpaka z’ensi yonna eza World Championships nga muno mulimu Timothy Toroitich eyakutte eky’omwenda mu kibinja kya siniya ne Mercyline Chelangat eyakutte ekya 12 mu bakazi.

Etteeka ly’ekibiina ekiddukanya emisinde mu nsi yonna ekya IAAF ligamba nti abaddusi 15 abasooka mu kibinja kya siniya mu mpaka za IAAF World Cross Country bagenda butereevu mu z’ensi yonna okwetaba mu mmita 10,000.

Ate mu bali wansi w’emwaka 20, musaayimuto Jacob Kiplimo,16, eyawangudde zaabu ku Ssande naye yafunye tiketi emutwala butereevu mu mpaka z’ensi ey’abatoabali wansi w’emyaka 18 eza U18 IAAF World Championships nga zino zaakubeera mu kibuga Nairobi kuva nga July 12-16,2017.

Mu kiseera ky’ekimu emisinde gy’eggwanga egy’okwegezaamu n’okulaba ng’abaddusi batuusa obudde obubeetagisa okwetaba mu z’ensi yonna giddamu ku Lwomukaaga luno mu kisaawe e Namboole oluvannyuma lw’okuba nga gyali giyimiriziddwa okwetegekera eza Cross Country egyategekeddwa wano mu Kampala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emirango n'ebiwoobe bibuuti...

Emirango n'ebiwoobe bibuutikidde lutikko e Lubaga mu kuziika Ssaabasumba Lwanga

Omukolo gw'okuziika Ssaabas...

Omukolo gw'okuziika Ssaabasumba Lwanga mu bifaananyi

Paapa alonze Bp. Ssemwogere...

Paapa alonze Bp. Paul Ssemwogerere, ow'essaza lya Kasana - Luweero okubeera Ssaabasumba w'essaza lya Kampala ow'akaseera....

Paapa akungubagidde Ssaabas...

Paapa akungubagidde Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga ng'ono obubaka obukungubaga abutisse omubaka we mu Uganda,...

Omulangira Ssimbwa

Omulangira Ssimbwa eyasimat...

Omulangira Arnold Ssimbwa afudde. Ono ye Muzzukkulu wa Ssekabaka Muteesa II omukulu era y'omu ku baasimattuka akabenje...