TOP

Poliisi ekubye omusaabaze essasi mu kabina

Added 31st March 2017

OMUSAABAZE akubiddwa essasi mu kabina , poliisi ng'egoba mmotoka mwe babadde batambulira oluvannyuma lwa ddereeva okugaana okuyimirira.

 Richard Muhigwa Cosma ng'apooca e Mulago oluvannyuma lw'okukubibwa essasi mu kabina nga Poliisi egezaako okuyimriza mmotoka gye baabaddemu ddereeva n'agaana okuyimirira. Ajjanjabibwa mukazi we Jolly Balyesiza mu ddwaaliro e Mulago. EKIF: DEBORAH NANFUKA

Richard Cosma Muhigwa 65, omutuuze w'e Nyamasoga Kibaale yabadde ne mukyala we n'abaana babiri nga bagenda Hoima bwe batuuse mu kkubo  e Bugoma , poliisi n'ebayimiriza kyokka ddereeva wa mmotoka ya Premo  UBA 317E gye baabaddemu n'agaana okuyimirira.

Agamba nti ddereeva yayongeddemu endiima bwe baatuuse e Hoima ne bayingira mu paaka ne poliisi n'eyingira ne batandika okukuba mmotoka amasasi wano we gaamukwatidde.

Annyonnyola nti ddereeva wa Premio yadduseemu n'agenda ku poliisi okugitegeeza ogubadde kyokka ye abazirakisa be baamuyambye ne bamutwala mu ddwaaliro e Hoima gye yaggyiddwa n'atwalibwa e Mulago kyokka  essasi likyagaanyi okuvaamu kuba lyayingidde mu gumba ly'ekisambi.

Bino byabaddewo ku Lwokubiri essaawa 11:00 ez'olweggulo  era bagguddewo omusango ku poliisi y'e Hoima, oguli ku fayiro nnamba SD: Ref 75/27/03/2017.

Peace Byaruhanga, mwannyina wa Cosma agamba nti baabadde bagenda mu ddwaaliro e Hoima okulambula omwana omulwadde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...