TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuwendo gw'abazaala nga tebanneetuuka e Mpigi gwe wuunyisizza Minisita Amelia

Omuwendo gw'abazaala nga tebanneetuuka e Mpigi gwe wuunyisizza Minisita Amelia

Added 3rd April 2017

Omuwendo gw'abazaala nga tebanneetuuka e Mpigi gwe wuunyisizza Minisita Amelia

Minisita Amelia Kyambadde e Mpigi

Minisita Amelia Kyambadde e Mpigi

MININSITA w’ebyobusuubui n'amakolero yenyamidde ku baana abawala abazaala nga bato mu Mpigi n'asasba minisitule y'ekikula ky'abantu baveeyo balwanyise ekizibu kino kuba kitadde obulamu bw'abaana bano mu  matigga.

Amelia Kyambadde okuzuula kino kidiridde okulambula amalwaliro
agenjawulo mu Mpigi, ab'emyaka 18 bebazadde omwezi oguwedde ku ddwaliro ekkulu e Mpigi kyokka nga abamu bali wakati w'emyaka 12 ne 15 n'asaba abazadde okuteeka essira ku baana baabwe abawala baleke kwonoonera nga bato.

Amelia asabye enteekateeka y’okusomesa abaana essomo lye by'ekikulu (sexual education) eteekebwe mu nkola kikendeeze ku muwendo gwa bawala abato okufuna embuto olwobutanya n'agamba nti kyamugaso nyo wadde nga bamu bakivumirira.

Akulira ebyobulamu mu Mpigi Dr Jane Ruth Nassanga asiimye Amelia olw'obuyambi obutasalako bwabawa n’okubasakira mu kampuni nebitongole ebyenjawulo era nti kikyusizza ebyobulamu mu Mpigi yonna.

Amelia akwasizza ab'eddwaliro lye Butoolo solar yamasanyalaze g'enjuba ennene ne firiigi omukuumirwa ebikozesebwa mu kuzaalisa nga bino bibaweereddwa kampuni yabachina eya ADH agikulira Eddie Xu ne yeeyama okudduukira amasomero amalwaliro 150 mu Mpigi.

Abasawo n'abatuuze be Butoolo basiimye kampuni eno okubawa solar ne bategeeza nti abakazi ababa bazze okuzaala babadde babatuma emisubbawa gyebabadde bakozesa nga amasanyalaze gagenze Amelia neyebaza akulira ebyobusuubuzi nobweggasi mu Mpigi Ronald kazibwe okubagatta ku kampuni eno (ADH) ebadduukiridde Amelia nabasaba okukuuma ebibaweereddwa obulungi babiganyulwemu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.