TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gwe baali bateebereza okusenda ettaka ly'ekkanise e Mpigi ne bookya emmotoka ye bamwetondedde

Gwe baali bateebereza okusenda ettaka ly'ekkanise e Mpigi ne bookya emmotoka ye bamwetondedde

Added 3rd April 2017

Gwe baali bateebereza okusenda ettaka ly'ekkanise e Mpigi ne bookya emmotoka ye bamwetondedde

MININSITA Amelia ayingidde mu nsonga z’abakulisitaayo abaayokya motoka y'omugagga gwe baali balumiriza okugezaako okusenda kanisa ne bamwetondera abasonyiwe.

Minisita wabamakolero, obusuubuzi n’obweggasi era nga ye mubaka wa Mawokota North Amelia Kyambadde ayingidde mu nsonga zaabakulisitaayo b'obusumba bwe Mabuye mu gombolola ye Kiringente mu Mpigi abagambibwa okutaayiza omugagga Pascal Lutalo gwe baali balumiriza okugezaako okusenda ekkanisa yaabwe ne bamukuba emiggo gattako okumwokyera motokaye
eyekika kya subaru gye yali agiddemu.

Mu Lukiiko Amelia lwatuuzizza ku kanisa ye Mabuye nga lukubirizibwa omwawule waayo Rev Geoge William Ntambi nga lwe tabiddwako abakulira ebyokwerinda mu Mpigi Amelia avumiridde ebikolwa byokutwalira amateeka mu ngalo ebisusse mu gombolola eno kyokka naasaba bannanyini ttaka bakkaanye ne kanisa embeera edde mu nteeko.

Olukiiko luno olwetabiddwamu n'omugagga Lutalo gwe bayokera emmotoka asoose kulaga mininsita kyapa kye eky'ettaka lye yagula nga kiraga nti ettaka lye erya yiika ebbiri ne kitundu liyita kumpi ne kkanisa kyokka nga liri ku plot nnamba ttaano ng'ate kkanisa eri ku plot ndala ekiwaliriza abakulisitaayo okumwetondera abasonyiwe kubanga baali baali balowooza agenda kusenda kanisa yaabwe.

Olukiiko olutandise nga lwakimpowooze mu kanisa ebadde ejjudde
abakulisitaayo be Mabuye luguddemu nnabe abakulisitaayo bwe batabuse bwe bategeezeddwa nti ettaka lyabwe okuli kanisa Alice Mutesi ne Kolin Ndugwa bannanyini ttaka lino baakatundako yiika 10 ku yiika 15 zebaaweebwa omugenzi Nduggwa.

Mutesi bw'abadde atangaaza ku ttaka eryaweebwa kanisa asoose kutegeeza nti alimanyi bulungi kubanga bbaabwe yeyaliwaayo kyokka n'atabawa kyapa kiraga bwannannyini wabula oluvannyuma bwabuuziddwa bwe lyenkana n'agamba nti tyalimanyi era tamanyi nabweryenkana ekiggye abakulisitaayo mu mbeera ne bamutabukira.

Wano Amelia alagidde omusika wa Ndugwa (Kolin Ndugwa) annyonnyole olukiiko ettaka lya kkanisa weriyitira era ne yiika zebaakatundako kyokka agenze okumaliriza okubatangaaza nga alaga yiika 10 zonna zaatundibwa dda era kino ne kinyiiza abakulisitaayo nga bagamba nti eyagula yagula mpewo kubanga bamaze emyaka egisoba mu 80 nga balikozesa.

Amelia akakkanyiza abakulisitaayo ababadde bavudde mu mbeera nga bagezaako okulumba Mutesi ne batabanibe n'abasaba balonde olukiiko lwa bantu bataano abali ku ludda lwa nannyini ttaka ne Kanisa batuule nga naye kwali balabe engeri gye banatereezamu enso z’ettaka lya kanisa.

Abakulisitaayio balaajanidde Amelia abayambe ku poliisi ne Lutalo
abasusse okubakwata ekiro kyokka ku byokwokya motokaye n'asaba Lutalo ensonga azikwate mpola bazigonjoole kyokka Lutalo ye n'abategeeza nti ayagala bonna abaamukuba bavunaanibwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....