TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusumba ne mukazi we bakwatiddwa lwa kutulugunya mwana

Omusumba ne mukazi we bakwatiddwa lwa kutulugunya mwana

Added 4th April 2017

OMUSUMBA ne mukazi we batwaliddwaku poliisi nga babavunaana okutulugunya omwana.

 Omusumba Musisi ne mukazi Natukunda. Mu katono ye mwana Joseph Kakooza eyakubiddwa

Omusumba Musisi ne mukazi Natukunda. Mu katono ye mwana Joseph Kakooza eyakubiddwa

BYA FLORENCE TUMUPENDE

Abatuuze nga bakulembeddwaamu kansala, Berna Ngabire baaloopye omusumba nga bagamba nti bayittirizza okutulugunya omwana waabwe ng’ate beefuula abalyoyi b’emyoyo era abaagala abantu.

Omwana Joseph Kakooza ow’emyaka 6, ye yasangiddwa mu maka g’omusumba Noah Musisi 38 ne mukyala we Judith Natukunda 32, ng’ali mu mbeera mbi.

Omwana ono azaalibwa omukyala omusumba gwe yasooka okuba naye.

Poliisi y’e Katovu ng’ekulembeddwaamu omuduumizi waayo ASP Lauben Tumusiime baagenze mu maka gano ne bakwata omusumba ne mukyala we.

Musisi ne Natukunda basumba b’ekkanisa ya Katovu Full Gospel be baakwatiddwa olw’okutulugunya omwana waabwe ne bamutuusaako n’ebisago.

Omusumba yaggyiddwa mu dduuka eritunda amasimu gye yabadde yeekwese ate mukazi we yasangiddwa mu nnimiro ng’omwana bamulese mu nnyumba, ali mu mbeera mbi.

Poliisi yasoose kuddusa mwana mu ddwaaliro lya Katovu Health Centre ll, olw’embeera embi gye yabaddemu wabula abasawo ne bamugoba ne bamusindika mu ddwaaliro ly’e Lyantonde okwongera okwekebejjebwa.

Omusawo Racheal Kamakune yategeezezza nti omwana yandiba nga yakosebwa mu lubuto olw’okusiiba enjala nga takyasobola kwogera, kulya wadde okunywa ekintu kyonna.

Kansala Ngabire yategeezezza nga mukyala w’omusumba bw’abadde ayitirizza okubonyabonya omwana nga kw’atadde n’okumuvuma kuba nnyina yamusuulawo.

Omusumba n’omukyala beegaanyi okutulugunya omwana ng’omukyala agamba nti omwana ye yasabye amukube emikono n’amagulu kuba yabadde tayagala kumukuba ku kabina.

Yagambye nti omwana yabadde tamutulugunya wabula okumubonereza olw’okuba 10,000/-.

Musisi yagambye nti abadde tamanyi nti omwana bamubonyabonya.

ASP Tumusiime yagambye nti abaakwatiddwa bagenda kubatwala mu kkooti bavunaanibwe okutulugunya omwana nga mu kiseera kino bakyakuumibwa ku poliisi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakristu nga basaba RDC Jjemba (owookubiri ku kkono) ennamba y’essimu ye oluvannyuma lwa Mmisa e Nangabo.

RDC agumizza ab'e Kasangati...

OMUMYUKA wa RDC atwala Kasangati, Nansana ne Makindye Ssaabagabo, Moses Jjemba agumizza abatuuze ku kibbattaka...

Minisita Muyingo n'abamu ku bakulira amasomero. Baali bava mu lukung'aana olumu gye buvuddeko.

Minisitule y'Ebyenjigiriza ...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ezzeemu okwekenneenya n’efulumya ebiragiro ebipya ng’abayizi ba P6, S3 ne S5 nga baddayo...

Allan Bukenya ng’alaga ennyama ense.

Kola ebyokulya mu nnyama en...

OSOBOLA okukola ebyokulya eby'enjawulo mu nnyama ense eri ku mutindo n'ogaziya bizinensi y'okuliisa abantu. ...

Emmotoka etadde ebitongole bya Gavumenti mu kaseera akazibu ku ngeri gye yayingira mu ggwanga.

Ebizuuse ku mmotoka ya Bobi...

EMMOTOKA ya Kyagulanyi gye yayanjulidde abawagizi be n'abategeeza nti teyitamu masasi aleese akasattiro mu bitongole...

Akalippagano ku nkulungo y’e Naalya.

▶️ Abakozesa Northern By ...

ABANTU abakozesa oluguudo lwa Northern By Pass balojja akalippagano k'ebidduka akali ku luguudo luno okuva bwe...