TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mubarrak Munyagwa bamuloopye mu Palamenti lwa bbanja

Mubarrak Munyagwa bamuloopye mu Palamenti lwa bbanja

Added 5th April 2017

Mubarrak Munyagwa bamuloopye mu Palamenti lwa bbanja

 Mubarrak Munyagwa

Mubarrak Munyagwa

AB'EKIBIINA   ekiwola ssente  bawandikidde palamenti nga basaba eragire omubaka wa kawempe South abasasule ssente ze yabeewolako   2200,000/- n'agaana okuzizaayo .

Ekiwandiiko kino kyakoleddwa ab'ekibiina kya Kanyanya savings and credit Society (SACCO) ne bakiweereza omukubirizza w'olukiiko lwe ggwanga Rebecca Alitwala Kadaga abagambire ku mubaka wa Kawempe South Mubraka Munyagwa  Sserunga amanyikiddwa nga mugaati gwa Bbata gwe balumiriza nti baamuwola  ssente obukadde 2,200,000/ mu kiseera we yabeerera meeya we Kawempe .

Erias Magala  akulira  sacco eno ategeezezza nti mu 2015 Munyagwa yagenda  ku ofiisi z'ekibiina kyabwe n'abasaba bamuwole obukadde 2,200,000/- ze  yagamba nti yali agenda kuzikozesa kwe wandiisa ku bubaka bwa palamenti.

Ebbaluwa eraga okwewola kwa Munyagwa

 

Agasseeko nti yabaategeezza nti agenda kuzibasasula nga KCCA ebasasudde  kyokka n'okutuusa kati yagaana okubasasula .

Agambye nti Munyagwa bwe yalaba bamubanja nnyo n'abawa cheque mu bbanka ya Tropical  kyokka  cheque n'ezibuuka nga kwa kawunti tekuli ssente,agasseeko nti baatuuka n'okukubira omubaka wa Kawempe North Latif Ssebaggala abagambire ku Munyagwa ne batayambibwa

Patrick Nsubuga  akola ku kuwola ssente mu sacco eno ategeezezza nti baali tebasuubira Munyagwa kugaana kubasasula  nga kigyeyo enjogera egamba nti gwowola otudde omubanja oyimiridde .

 

Bukedde yakibidde Munyagwa essimu nga takwata ,oluvannyuma omuyambi we Musa ategeezezza nti abadde amaanyi nti ensonga zino zaamalirizibwa nga wano we yasabidde ababanja mukama we ensonga bazikwate mpola kuba baasaasaanya ssente nnyingi mu biseera by'okunoonya akalulu ng'amabanja balina mangi ng'era yasuubizza okujjukizza mukama we .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hon.Nakiwala ng'annyonnyola

Minisita Nakiwala Kiyingi a...

Minisita omubeezi ow'abavubuka n'abaana mu ggwanga Florence Nakiwala Kiyingi asabye abavubuka bulijjo okwekolamu...

Poliisi ereese Ikara

GOOLOKIPPA Tom Ikara asaze bakyampiyoni Vipers SC ne URA FC ekikuubo bw'atadde omukono ku ndagaano ya myaka ebiri...

Hajji Farooq Ntege akubye a...

MUNNABYABUFUZI Hajji Farooq Ntege akubye enkata abasiraamu be ggombolola ya ‘Makindye West’ bwa bawadde lukululana...

President Museveni

Pulezidenti Museveni akoze ...

Pulezidenti Museveni akoze enkyukakyuka mu Magye ga UDPF

Brig.Flavia Byekwaso alondeddwa okwogerera amagye ga UPDF

Brig. Flavia Byekwaso alond...

UPDF elonze Brig Gen Flavia Byekwaso mu kifo ky'omwogezi wa UPDF ekibaddemu Brig. Gen. Richard Karemire ate Karemire...