TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyalebula Hajjati Mpungu ayagala kkooti emusonyiwe

Eyalebula Hajjati Mpungu ayagala kkooti emusonyiwe

Added 8th April 2017

Eyalebula Hajjati Mpungu ayagala kkooti emusonyiwe

OMUSAJJA eyagenda mu kkanisa ya Paasita Robert Kayanja eya Lubaga Miracle Center, n’alebula Hajjati Nuur Mpungu nti yamussaamu ebyawongo ebimubuzizza emirembe alajaanidde mu kaguli ka kkooti n’asaba ekisonyiwo.

Ssaalongo Quraish Matovu ow’e Bweyogerere asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Allan Nyakana owa kkooti ya Mwanga II, e Mengo n’avunaanibwa okweyita mutabani wa Hajjati Mpungu ng’agamba nti yamuwonga mu byawongo ebimubuzizzaako emirembe.

Okusinziira ku Hajjati Mpungu , Ssaalongo Matovu bwe yali ku kkanisa ya Lubaga Miracle Center mu nteekateeka ya 77 Days of Glory(DOG), eweerezebwa obutereevu ku mpewo za Channel 44, yategeeza nti mutabani we. “Omuvubuka oyo yagenda n’ayonoona erinnya lyange ng’anjogerako nti nze nnyina kyokka ng’akimanyi bulungi nti ssi nze amuzaala era simumanyi.

Yagenda mu maaso n’agamba nti obugagga bwange mbuggya mu byawongo ekyonoona erinnya lyange kuba nze buli kikumi kye nnina nakikolerera”, Hajjati Mpungu bw’agamba.

Ssaalongo Matovu, yatandikiddewo okwegayirira n’okwetondera Hajjati Mpungu okumusonyiwa kuba yali anoonya ssente za kulabirira baana be. N’agamba nti omusango agukkiriza era omulamuzi n’agwongerayo okutuusa nga April 10.

“Nsaba kisonyiwo sseegaana bigambo ebyo nabyogera kyokka nnali nnoonya ngeri gye nfuna buyambi nnyimirizeewo amaka kuba nnina abalongo n’abaana abalala,” Matovu bwe yalaajaanye. Yasabye waakiri awe Hajjati Mpungu pikipiki gye yaakagulaokulaga nti yeetonze

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akulira UNEB Dan Odongo.

UNEB be yasunsudde okutegek...

Bya Benjamin Ssebaggala  AKAKIIKO akagaba n'okusunsula abakozi mu minisitule y'ebyenjigiriza (Education Service...

Omusawo ng'agezesa bwe balongoosa.

''Mukebere abalwadde endwad...

AKULIRA eddwaaliro ly’e Mulago, Dr. Byarugaba asabye abasawo abalongoosa endwadde nga kkansa w’omu byenda essira...

Abamu ku baabadde mu lukiiko.

Ababadde basolooza busuulu ...

ABATUUZE beekubidde enduulu mu boobuyiinza babayambe obutatundirwa mu bibanja byabwe okubafuula emmomboze. Kiddiridde...

Omusajja ng'afuuyira mu ntebe z'omutuuze.

Balimwezo ne KCCA baggudde ...

Ekitongole kya KCCA nga bali wamu ne Balimwezo Community Foundation batongozza okufuuyira ebiku n’ebiyenje nnyumba...

Mwanje eyabula.

Omusajja eyabula yeeraliiki...

Ssande Mwanje 37, ow'e Gganda yeeraliikirizza mukyala we Aisha Nakanjako 28. Ono yamulekera abaana bana: omukulu...