TOP

Basabidde Kabaka edduwa

Added 9th April 2017

Basabidde Kabaka edduwa

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga asabye abakulembeze bongere okusabira Kabaka Ronald Muwenda Mutebi, Katonda amuwangaaze ate n’okwagazisa abagoberezi baabwe Obwakabaka.

Bino Mayiga yabitadde mu bubaka bwe yatisse minisita wa Ssaabasajja omubeezi ow’ebyobulambuzi, Yusuf Wamala Gaganga eyamukiikiridde ku kitebe ky’Obusiraamu e Kampalamukadde, mu dduwa ey’enjawulo okusabira Kabaka Mutebi mu bikujjuko by’okujaguza amazaalibwa ge ag’emyaka 62.

Yagambye nti bannaddiini basaanye basomese abantu okwagala Obuganda ne Kabaka waabwe kibasobozese okussa mu nkola by’abagamba nga bwebalwanyisa obwavu ate bakulaakulanye eggwanga lyabwe.

Mufti wa Uganda, Sheikh Shaban Ramadhan Mubajje yagambye yagambye nti Gavumenti y’e Mmengo ekoze ebintu bingi ebiyambye abantu bonna nga n’Abasiraamu mw’obatwalidde ng’eno y’ensonga lwaki obukulembeze bwe bwetegefu okugenda okuwagira enteekateeka za Ssaabasajja. Dduwa y’okusabira Kabaka eyakulembeddwamu Imaam Sheikh Rajab Kakooza, nayambibwako Sheikh Qaeiri Mbogo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaserikale nga bakunya omusajja eyabadde n'emmundu.

Bamukutte n'emmundu mu luki...

POLIISI ekutte omusajja eyabadde n’abawagizi ba Joe Biden n’emmundu ejjudde amasasi okumpi n’olukuggaana lwa Pulezidenti...

Dokita ng'agema omwana polio.

Polio taggwangayo - Dokita

GAVUMENTI erabudde Bannayuganda ku bulwadde bwa polio ne balagirwa obutabugayaalirira bayongere okutwala abaana...

Ababbi kkamera be yakutte nga banyaga edduuka e Bunnamwaya.

Kkamera zikutte ababbi nga ...

ABABBI balumbye edduuka ly’ebizimbisibwa e Bunnamwaya ne banyaga ebintu nga tebamanyi nti kkamera ezaabadde munda...

Abatuuze nga bali mu lukiiko.

Batabukidde omusamize mu lu...

ABATUUZE b’e Jjokolera mu ggombolola y’e Nangabo mu disitulikiti y’e Wakiso balumirizza omusamize okubateega n’abawamba...