TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri muwala wa Drake Lubega gye bamukubye akatayimbwa

Engeri muwala wa Drake Lubega gye bamukubye akatayimbwa

Added 10th April 2017

Drake Lubega mu kuziika eggulo yagambye nti abuusabuusa nti muwala we yafudde kabenje, kubanga mu kunoonyereza kwe baakoze baazudde nti Birungi yakubye enduulu ng’alaajana nti bamubbyeeko ensawo era ateebereza nti ababbye ensawo baasoose kumukuba katayimbwa ku mutwe.

 Omugenzi Bonitah Lubega

Omugenzi Bonitah Lubega

Bya AMON MUKASA

MUWALA w’omugagga Drake Lubega yasimbudde awaka ku ssaawa nga 12:00 ez’oku makya.

Yabadde akutte ensawo omwabadde ssente n’amasimu era yabadde waakulinnya bodaboda emutuuse ku ofiisi ya kitaawe mu Kampala.

Bwe baamulinze ku ofiisi nga tebamulaba ne batandika okukuba ku masimu ge; nga gavuga kyokka nga teri akwata.

Baatandise okunoonya era kyabatwalidde ennaku ssatu nga bwe bakuba ne ku masimu g’omuwala era oluvannyuma omusajja yakutte essimu n’abategeeza nti: Nnannyini ssimu mumunoonyeze mu ggwanika e Mulago. Temuddamu kuntawaanya!

Essimu yavuddeko era Lubega n’atuma abantu e Mulago okuzuula oba ebigambo by’omusajja gwe baalowoozezza nti “mubbi wa ssimu” bye yabadde abagambye.

Baakebedde emirambo gye baasanze mu ggwanika era okwetegereza nga n’ogwa Bonitah Birungi Lubega muwala wa Drake Lubega nagwo mwe guli.

Ssanduuke okuli ekifaananyi kya muwala wa Lubega.

 

BABADDE BAMUTWALA KUSOMERA CANADA

Olwalabye omulambo, emiranga gy’egyaddiridde nga bakungubagira omuwala omuto abadde yaakamaliriza S6 nga bategeka kumutwala mu yunivaasite y’e Toronto mu Canada gy’abadde agenda okusomera Diguli.

Omwaka oguwedde, Birungi 18 yatudde S.6 mu Greenhill Academy Secondary School e Kibuli mu Kampala era enteekateeka zibadde zimaliriziddwa asitule omwezi ogujja okugenda ku misomo e Canada.

Benita Lubega nnyina w’omwana mu kiseera kino ali mu Amerika gye yagenda oluvannyuma lw’okwawukana ne bba mu 2013 nga bafunye obutakkaanya obwasattulula obufumbo obutukuvu bwe baali bamazeemu emyaka 13 okuva lwe baabagattira e Namirembe nga December 23, 2000.

Wadde Lubega alina amaka e Kololo kyokka abaana abamu naddala abakulu ssi mwe basula era ne Birungi abadde si mw’asula.

Omuwala ono eyafiiridde ku myaka 18, abadde asula Ntebettebe – Bweyogerere awali ekkolero lya kitaawe ery’obuveera era yasalawo okusula eno kimusobozese okutuukiriza obuvunaanyizibwa kitaawe bwe yamuwa okulabirira enzirukanya y’emirimu mu kkolero eryo.

Ennaku ezimu abadde akeera mu kibuga (Kampala) ku ofiisi ya kitaawe okumuyitiramu ebintu bwe bitambula n’okugula ebibeera byetaagisa mu kutambuza emirimu gy’ekkolero, era y’enteekateeka gye yasuze nayo ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde.

Omugagga Drake Lubega mu lumbe lwa muwala we

 

 

ENGERI GYE BASSE OMUWALA

Entambula gye yakozesezza ng’ava awaka ekyatankanibwa kyokka abamu bagamba nti yalinnye bodaboda gye yasanze etambula era kiteeberezebwa nti eno y’eyamusudde mu nfo y’ababbi abaamukubye akatayimbwa ne batwala ensawo omwabadde ssente n’amasimu.

Waliwo omu ku booluganda eyategeezezza nti bwe yalemeddeko ennyo ng’akuba emu ku ssimu ya Birungi, waliwo eyagikutte n’agamba nti wa bodaboda era n’ategeeza nti nnannyini ssimu yafunye akabenje ng’asala ekkubo, takisi n’emukoona era yayambyeko okumutwala mu ddwaaliro ly’e Ggwaatiro kyokka bwe baakizudde nti afudde kwe kutwala omulambo e Mulago.

Wabula ebigambo bino teyabikakasizza kubanga omusajja ono bwe baamubuuzizza oba yakutte ennamba ya takisi eyatomedde Birungi yakkirizza kyokka bwe baamugambye agibasomereko ate n’aggyako essimu.

Drake Lubega mu kuziika eggulo yagambye nti abuusabuusa nti muwala we yafudde kabenje, kubanga mu kunoonyereza kwe baakoze baazudde nti Birungi yakubye enduulu ng’alaajana nti bamubbyeeko ensawo era ateebereza nti ababbye ensawo baasoose kumukuba katayimbwa ku mutwe.

Omulambo gwasangiddwaako ekiwundu ekinene ku nkoona kyokka Lubega yagambye nti bagenda kukwatagana ne poliisi bazuule ekituufu kubanga lipoota y’omusawo yalaze kimu nti yafudde oluvannyuma lw’okuvaamu omusaayi omungi nga guyita mu kiwundu ekyabadde ku mutwe.

Robert Kabanda Kiwanuka omu ku mikwano gy’omugagga Lubega yagambye nti baabategeezezza nti obuzibu omuwala yabufunidde okuliraana wooteeri ya Mamerito ng’essaawa zikunukkiriza 12:30 ez’oku makya, kyokka ekituufu kikyabatabudde.

Mikwano gy’omugenzi mu kuziika.

 

Omuduumizi wa poliisi ya Kira Division (DPC) Richard Asiimwe yagambye nti omuwala yasangibwa ku makya g’Olwokusatu ng’aboyaanira wansi okuliraana wooteeri ya Mamerito Mugerwa kyokka yali tasobola kwogera bituuseewo era ne bamutwala mu ddwaaliro ly’e Ggwaatiro gye baamuggya okumwongerayo e Mulago ng’avaamu omusaayi mungi n’afiira mu kkubo.

Yategeezezza nti bakyanoonyereza ekyatuuseewo kyokka bagenda kunoonya n’abalina amasimu ga Birungi bayambeko mu kunoonyereza ku ngeri omwana ono gye yafudde.

Abatuuze baategeezezza nti ekitundu ekyo kirimu abavubuka ab’omutawaana abakuba obutayimbwa ate abamu nga bakolagana n’aba bodaboda era bateebereza nti n’omuwala ono yakubiddwa katayimbwa.

Birungi yaziikiddwa eggulo ku kyalo Bunyiri mu Ggombolola y’e Kyampisi mu disitulikiti y’e Mukono wakati mu kwaziirana okuva mu bazadde ne mikwano gy’omuwala ono eyafiiridde mu maanyi.

Rev. John Mitala ye yakulembedde okusaba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bbebi gwe baasudde mu ddwaaliro

Omusajja acankalanyizza edd...

OMUSAJJA acankalanyizza eddwaliro bw'atutte bbebi n'amusuulira abasawo nga abalumiriza obutakozesa bukugu ekyaviirako...

UNRA bataddewo amaato okuso...

ABATUUZE mu ggombolola y'e Galiraaya mu disitulikiti y'e Kayunga ababadde batakyasobola kutambula olw’oluguudo...

Mmeeya Balimwezo ng’ayogera n’abamu ku basuubuzi b’omu katale k’e Nakawa.

Kaabuyonjo y'akatale k'e Na...

EYALOGA omugagga Haruna Ssentongo tannassa mbugo! Anti bamututte mu kkooti nga bbanka ya Orient emubanja obuwumbi...

Maj. Kakooza Mutale asuze k...

MAJ Roland Kakooza Mutale n’ekibinja ky'abajaasi be Basuze ku malaalo ga Kasirye Ggwanga nga bamukungubagira nebamutendereza...

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...