TOP

Ddereeva bamusalidde emyaka 5 lwa kutta muntu

Added 11th April 2017

OMULAMUZI wa kkooti Ento e Makindye, Erias Kakooza asingisizza ddereeva wa takisi omusango gw’okutta omuntu n’amulagira okugende e Luzira yeebakeyo emyaka etaano n’emyezi etaano.

 Ramadhan Ajaga ng'atuusibwa mu kkooti e Makindye. EKIF: PONSIANO NSIMBI

Ramadhan Ajaga ng'atuusibwa mu kkooti e Makindye. EKIF: PONSIANO NSIMBI

OMULAMUZI wa kkooti Ento e Makindye, Erias Kakooza asingisizza ddereeva wa takisi omusango gw’okutta omuntu n’amulagira okugende e Luzira yeebakeyo emyaka etaano n’emyezi etaano.

Ramadhan Ajaga 36, omutuuze w’e Kikubamutwe - Kabalagala ye yasindikiddwa mu nkomyo oluvannyuma lw'okusingisibwa emisango etaano omuli ogw’okutta Abdul Musobya n’okulumya John Kwaba ne Joseph Balutte be yatomerera e Kisugu Namuwongo mu Kampala.

Bano baali batambulira ku pikipiki nnamba UEO 844K ng’ono yali avuga takisi nnamba UAR 936Z.

Yatomera n’ekikondo ky’amasannyalaze, okwonoona ebintu by’abantu abaali baliraanyeewo.

Ajaga avunaanibwa n’omusango gw’okuvuga mmotoka nga talina bisaanyiza ate nga n’emmotoka teri mu mbeera nnungi ekyamuviirako okukola akabenje.

Ajaga ogw’okuvuga mmotoka eteri mu mbeera nnungi yagwegaanye era n’alagirwa okukomezebwawo mu kkooti nga April 24, 2017.

Kakooza agamba nti kino akikoze, Ajaga abeere eky’okulabirako eri abalala abavuga mmotoka nga tebalina bisaanyizo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaserikale nga bawaayo ebyambalo.

Aba SPC bawaddeyo ebyambalo...

ABASIRIKALE 200  abaateekebwawo okuyambako mu biseera by'okulonda bazizzaayo ebyambalo bya poliisi abamu  nga...

Aba NUP nga bawaga e Kamwokya.

Aba NUP si bamativu ku miso...

ABAKULEMBEZE b'ekibiina kya National Unity Platform (NUP) bavuddeyo ku misolo emipya egiteekebwateekebwa gavumenti...

Zaake ng'ayogera e Kamwokya.

Omubaka Francis Zaake awera

Omubaka Francis Zaake akiikirira munisipaali y'e Mityana era nga ye mukulembeze w'abavubuka mu NUP, alojjedde Bannakibiina...

Kayongo ng'annyonnyola.

Nkyali mukulembeze w'akatal...

Abadde ssentebe w'akatale ka St.Balikuddembe, Godfrey Kayongo ategeezeza nti akyali mukulembeze w'abasuubuzi b'ekibiina...

Abakugu nga balaga ekyuma ekifuyiira n'okutta obuwuka bwa Covid 19.

Bakoze ekyuma ekifuyiira n'...

Abakugu mu bya tekinologiya okuva mu ggwanga lya Romania nga bali wamu n'ab'ekitongole kya Good Care baliko ekyuma...