
Ennyumba saanyiziddwaawo bbaasi
Bya Florence Tumupende
AKABENJE kagudde ku luguudo oluva e Mbarara okudda e Masaka okumpi n'akabuga k’e Kyazanga bbaasi ey’ekika kya BISMAKAN nnamba UAM 813 C bwe yekanze bbaasi ya GATEWAY namba UAZ 483D ebadde eyimiridde okumpi ne Fuso nnamba UAY 385E ebadde ettise amatooke n'egikuba akabina kaayo akajiwaludde n'esaabala ennyumba ebadde eriranyeewo.
Kigambibwa nti omuntu omu yekka abadde mu bbaasi amanyiddwanga Bbosa Willy y'afiiriddewo abalala bana ne batwalibwa mu ddwaliro e Masaka.
Mu kiseera bbaasi weyayingiridde ennyumba abantu ababadde basula mu nnyumba eyatomeddwa bbaasi baabadde bafulumye wabweru okulaba fuso etikkula amatooke baagenze okulaba nga bbaasi ebayitako zonna n'eyingira ennyumba omwabadde omwana Shiraf Nsereko ow’omwaka gumu n’ekitundu eyasimatuse okufa.
Ebintu ebibalibwa mu bukadde 20 nga kwogase n’ennyumba bye byayonoonese awamu n’ebirime okuli kasooli,emmwaanyi,ebijanjaalo,
Nannyini nnyumba eyasigadde ku ttaka omw. Muhammed Mugerwa
yazirise okumala akabanga ng’alaba amakaage n’ebirime bisaanyiziddwaawo ng’ono naye atwaliddwa abazira kisa mu ddwaliro okusobola okufuna obujjanjabi obwamangu.
Okusinziira ku babaddewo mu kiseera akabenje kano wekagwiiriddewo batehgeezezza nti obuzibu buvudde ku muvuzi wa bbaasi ya BISMAKAN bwatuuse mu kkoona awese ku sipiidi ate nga mumaaso waliwo obubonero obulaga nti mumaaso waliwo ekizibu ekituseeyo nga ye tebifuddeeko avuze buvuzi
Wabula oluvannyuma lw'abenje kano okugwaawo ba Ddereeva bombi abakoze ekabenje kano badduse nga n'okutuusa kati tewali n'omu alabiddwaako waakutte.
Atwala Poliisi y'ebidduka mu disitulikiti y’e Lwengo Reinhold
Rwakirenzi akakasizza nti akabenje kano n'ategeeza nti kaavudde ku mugoba wa bbaasi eyabadde avugisa ekimama ng'ate atuuse mu kkoona.