TOP

Abasuula ebibaluwa e Lwengo basattizza abatuuze

Added 14th April 2017

Abasuula ebibaluwa e Lwengo basattizza abatuuze

 Omubaka wa Pulezidenti e Lwengo Harriet Nakamya ng'ayogerera mu lukiiko lw'ebyokwerinda e Lwengo

Omubaka wa Pulezidenti e Lwengo Harriet Nakamya ng'ayogerera mu lukiiko lw'ebyokwerinda e Lwengo

Bya Maria Nakyeyune

AB'EBYOKWERINDA e Lwengo batuuzizza olukiiko ku kyalo Musuubiro ne bassaawo obukwakkulizo ssaako n'amateeka  kwe balina okutambulira naddala mu kiseera kino eky'okukuza amazuukira ga mukama waffe yesu kristu.

Olukiiko luno olukulembeddwaamu omubaka wa Pulezidenti e Lwengo Harriet Nakamya, lutegekeddwa okutema empenda z'eby'okwerinda oluvannyuma lw'abazigu okubalaaliraka nti bagenda kulumba ebyalo mukaaga okuli;Nkomo, Rwenziga, Muwangi, Kyalutwaka, ne Kigali ne Musuubiro.

Ekimu ku bibaluwa ebiraalika okukola obulumbaganyi ku batuuze

 

Agamu ku mateeka agasaliddwaawo mu lukiiko luno kitegeezeddwa nti tewali bizinensi ya bbaala egenda ku sukka ssaawa ttaano ng'ekyakola ssaako n'abantu okukoma okutambula ku ssaawa ttaano ez'ekiro.

Abatuuze  nga bakulembeddwaamu Kansala waabwe Ssempiira Stanley bategeezezza nti bafunye ebibaluwa ebitiisatiisa okutemaatema abatuuze abali ku lukalala lw'abantu 16 abataasangibwe na sente nga bafunye n'obubaka ku masimu obubalagira okwetegeka.

Ssentebe wa Disitulikiti ye Lwengo George Mutabaazi ng'awa abatuuze amagezi ku by'okwerinda

 

 

Mu lukiiko luno Ssentebe wa District y'eLwengo George Mutabaazi ategeezezza nti eky'abazigu kiyambyeko okuzuukusa ababadde beebaka ennyo n'okuzannya amatatu n'abasaba bakwataganire wamu ne Poliisi okulwanyisa obumenyi bw'amateeka   okutandika ne ssaawa ttano ez'ekiro bakube buli gwe beekengedde n'okusonda 2000 buli maka ziyambeko abakuuma ekiro.

Abatuuze nga bali mu lukiiko lw'eby'okwerinda

 

Omubaka wa Pulezidenti e Lwengo Harriet Nakamya asabye abatuuze okukomya okusula mu birabo by'omwenge mu bikujjuko by'amazuukira basule nga bakuuma n'abalagira okuwagala ebiso n'amafumu okwerinda abeesomye okubalumba 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...