TOP

Poliisi ku Kaleerwe ekutte 3

Added 16th April 2017

Rashid Kakeeto, Herman Kateregga 19, ne Peter Wasajja 18 yadde poliisi ebalinako obujulizi obulaga nti bakyamu wabula bbo nga bali ku poliisi baategeezezza nti babawaayirizza tebalina ky’ebamanyi ku bigambibwa nti balina ekibinja ky’ababbi kyokka Peter Wasajja oluvannyuma yakakasizza nti yaliko owoomutawaana naye bwe baamusiba ennyo mu makomera ag’enjawulo n’atandika okukola okuggyako we baamukwatidde sitaani y’abadde amukemye okubbayo omulundi gumu abiveeko.

 Kakeeto (ku kkono) ne Kateregga.

Kakeeto (ku kkono) ne Kateregga.

Bya MOSES LEMISA

POLIISI ekutte basatu ku baduumira ebikwekweto by’ababbi e Kawempe abalala beemuludde ne babulawo.

Be bakutte babasanze n’ebissi baabazingizza ku Kaleerwe mu kiro ekyakeesezza ku Ssande.

Ekibinja kino kikulirwa abavubuka munaana ng’okukwatako abasatu abatuuze be baayise poliisi oluvannyuma lw’abavubuka okussa emisanvu mu nguudo ez’enjawulo mu Kawempe ne batandika okubba abantu era mu ku bakwata baasoose kukubagana n’abamu ku baserikale.

Abasatu abaakwatiddwa kuliko; Rashid Kakeeto, Herman Katerega 19, batuuze b’e Kyebando nga bakolera mu Lufula ne Peter Wassajja 18 omutuuze w’e Kanyanya nga bano kigambibwa balina ekibinja ky’ababbi eky’omutawaana ekiteega abantu mu bitundu eby’enjawulo mu Kampala.

Ekibinja kino nakyo kirina enkola yaakyo ey’okukola ebikwekweto okunoonya be banabba.

Harriet Namubiru omutuuze w’omu Kisenyi zooni yategeezezza nti abavubuka abasinga obutemu basibuka mu lufula y’oku Kaleerwe gye beefuula nti bakola kyokka ng’ekiro bakuba bantu n’okubafumita ebiso.

Wasajja

 

Yagasseeko nti abavubuka bano abaakwatiddwa balinako obukakafu nti bakyamu kuba lumu yali ava ku mulimu n’abasanga ku ssaawa 6:00 ogw’ekiro ne bamugamba nti abawe ssente n’okuggyamu engoye ze annyumye nabo akaboozi naye ekya muyamba y’emmotoka eyali eva e Bwaise n’ebakubamu amataala .

“Abavubuka abo ekisinga okunnuma abamu bazze bakwatibwa ne bayimbulwa. Singa batwalibwa e Luzira osanga twandifunye ku buweerero naye ate waliwo ekibinja ky’abaana abato abasitudde enkundi bafuuse ekizibu nsaba abazadde nga tebananenya poliisi n’abakulembeze okukwata abaana baabwe nabo bakole omulimu gwabwe ogw’okubuulirira abaana,” Namubiru bwe yategeezezza

Rashid Kakeeto, Herman Kateregga 19, ne Peter Wasajja 18 yadde poliisi ebalinako obujulizi obulaga nti bakyamu wabula bbo nga bali ku poliisi baategeezezza nti babawaayirizza tebalina ky’ebamanyi ku bigambibwa nti balina ekibinja ky’ababbi kyokka Peter Wasajja oluvannyuma yakakasizza nti yaliko owoomutawaana naye bwe baamusiba ennyo mu makomera ag’enjawulo n’atandika okukola okuggyako we baamukwatidde sitaani y’abadde amukemye okubbayo omulundi gumu abiveeko.

John Nabongho akulira ekibikwekweto ku poliisi y’oku Kaleerwe yategeezezza nti poliisi erina olukalala lw’abamenyi b’amateeka aboomutaawana naye buli lwe bakola ebikwekweto okubakwata badduka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ensujju ezibadibiridde.

Bbeeyi y'ensujju esattiza a...

ABALIMI n'abasuubuzi b'ensujju batabuddwa oluvannyuma lw'akatale okubeera akatono ddala ate nga bazirina mu bungi....

Gen.Tumukunde asiimye abaga...

ABADDE avuganya ku bwapulezidenti mu kalulu akaakaggwa, munnamagye eyawummula, Lt. Gen Henry Tumukunde agambye...

Abavubuka nga beetisse omulabo gwa munnaabwe okugwetoolooza tawuni y’e Kiyunga.

Owa NUP eyattibwa aziikiddwa

ABANTU bangi beetabye mu kuziika omuvubuka Rogers Ssemakula 25, eyali ow’ekibiina kya NUP, eyabuzibwaawo abantu...

Omuyimbi Geosteady asiramuse

OMUYIMBI Geosteady ng'amanya amatuufu ye George Kigozi asiraamuse kati ye Hassan Kigozi era ne bamutooza ne Shahaduh...

Rebecca Kadaga awadde Gavum...

SIPIIKA wa Palamenti Rebeeca Kadaga awadde gavumenti amagezi okwongera amaanyi mu bamusiga nsimbi enzalwa eza wano...