TOP

Bamusuulidde bbebi n'addukira ku poliisi

Added 22nd April 2017

Bamusuulidde bbebi n’addukira ku poliisi

 Binemaliya ne Weimana n’omwana waabwe.

Binemaliya ne Weimana n’omwana waabwe.

ABAFUMBO bafunye obutakkaanya omukazi n’asuulira muganzi we bbebi owa wiiki ssatu n’abeera naye okumala ennaku nnya nga bw’alabye tamusobola ne yeekubira enduulu ku poliisi.

Emmanuel Binemaliya 25, asiika Chapati mu Kirimanyaga Zooni ewa Zzana ye yaddukidde ku poliisi e Katwe n’agisaba okuyita Resty Weimana 20, asiika cipusi anone omwana kuba yabadde amulemye okulabirira.

Binemaliya yagambye nti okuva omuwala ono bwe yafuna olubuto yatandikirawo okumutegeeza nga bwe yali agenda okuluggyamu. Bwe yazaala yamutegeeza nga bw’agenda okutta omwana singa tamuwa ssente zimutwala waabwe Kisoro nga kulina okubaako ne ssente z’okutandikawo bizinensi asobole okulabirira omwana singa bazadde be bamugoba awaka.

Yabadde tannaba kufuna ssente n’asalawo okumusuulira omwana era bwalabye tamusobola kwe kusalawo okwekubira enduulu ku poliisi y’e Katwe emutaase.

Akola ku nsonga z’amaka e Masajja yawadde Binemaliya amagezi okutwala omwana ku Ssanyu Babies Home asobole okufuna obuyambi kubanga ayinza okumufaako .

Maama w’omwana olwakiwulidde n’agenda ku poliisi ne yeegaana eky’okwagala okutta omwana n’agamba nti okuva bw’ataggyamu lubuto kitegeeza nti omwana yali amwagala n’asaba bba awe omwana obuyambi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...