TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaakakiiko basibiddwa emyaka 25 lwa kutta muntu

Abaakakiiko basibiddwa emyaka 25 lwa kutta muntu

Added 22nd April 2017

Abaakakiiko basibiddwa emyaka 25 lwa kutta muntu

ABAAKAKIIKO k’ebyokwerinda e Kawaala abakkakkana ku muvubuka gwe baali bateebereza okuba omubbi ne bamukuba okutuusa lwe yafa basibiddwa emyaka 25 buli omu lwa kutwalira mateeka mu ngalo.

Abdallah Kaweesi eyali omuwandiisi w’akakiiko, Johh Kizito Gonzaga ne Disan Tumwesigye kigambibwa nti beefuula kkooti ne basalira Ramsey Kwizera 19, ekibonerezo eky’okufa nga bamuteeberezza okusumulula amataala ku mmotoka ya Gonzaga nga kye kyabasibisizza emyaka 25 buli omu.

Okusinziira ku bujulizi bwa James Kizza eyalaba nga batta omugenzi nga buno bwe bwasinze okubasiba, omugenzi baamutemaatema omubiri gwonna nga bwe bamukuba emiggo okumala eddakiika 30 nga bw’abeegayirira obutamutta kuba si mubbi okutuusa lwe yaggwamu amaanyi ne bayita poliisi eyasanga nga yafudde dda.

Bino byaliwo mu April 2013 ekiro bwe baamala okumutta nga n’abantu bakuhhaanye ne bakwata entuumu y’ebintu ebibbe ne babimuteeka okumpi okukakasa nti abadde mubbi ekintu poliisi kye yagaana okukkaanya nakyo.

Mu kwewozaako baategeezezza omulamuzi Yasin Nyanzi nti abantu baawulira enduulu yaabwe ekiro nga bagoba omubbi bwe bavaayo ne bakuba omugenzi ne bamutta.

Baali tebasobola kuyamba kuba abantu baali bangi. Wabula omulamuzi yagaanyi okukkiriza okwewozaako kwabwe. Nga tannabawa kibonerezo, baasabye ekisonyiwo olw’ekikolwa ekyo ne bategeeza nti tebaagenderera kumutta kyokka n’abasindika e Luzira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mbuga ne Vivian

Ebya SK Mbuga ne mukyala we...

JALIA Vivian Mbuga yasoose kuvaayo ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face book n’avumirira ebikolwa by’obutabanguko mu...

Obutungulu busobola okukugg...

GWE abadde alowooza nti obwavu bwakwesibako era nga n’olumu weeyita mwavu, okukaaba kwo kukomye anti obutungulu...

Paul Kafeero

Ebya Kafeero okuziikuulwa b...

ABAANA ba Paul Kafeero bana bapangisizza looya omupya okubawolereza mu musango ogwabawawaabiddwa bannaabwe 10....

Engeri Corona gy'akosezzaam...

Engeri abatawulira, abatayogera n’abaliko obulemu obulala ate nga balina obulwadde bw’olukonvuba gye bakoseddwaamu...

Ennyumba Ssendawula gye yazimba e Kayunga.

Famire y'omusama amansa sse...

OLUKIIKO lwa ffamire olwatudde ku nsonga z’omuvubuka wa ‘Rich Gang’ Luke Junior Ssendawula lwasazeewo aziikibwe...