TOP

Abasajja bambonyabonyezza ne mbakoowa

Added 22nd April 2017

Abasajja bambonyabonyezza ne mbakoowa

NZE Robinah Nankaayi, mbeera Kawempe. Nafumbirwa mu 2013 nga nnina emyaka 14. Bino byatuukawo oluvannyuma lw’omusajja okunfunyisa olubuto bwe nali nsomera e Kasawo mu Bugerere mu S1. Mu kiseera ekyo nali mbeera ne jjajja wange e Bugerere. Omusajja ono yali mukinjaaji era twasisinkana Kawempe gye nnali ηηenze okuwummulira ne tusiimagana.

Yansuubiza ensi n’eggulu omwali n’okumwanjula mu bazadde bange, okunkolera bizinensi n’ebirala bingi. Ebyava mu kupepeya kuno lwali lubuto era olwakitegeera, awaka nabulawo bubuzi ne tupangisa e Lugoba ng’atya bazadde bange okutegeera nti ndi lubuto kuba nnali nkyasoma.

Twatandika obufumbo bwaffe nga buli kimu kitambula bulungi okutuusa bazadde bange bwe baatandika okunoonya nga bayambibwako poliisi n’emikutu emirala egy’empuliziganya kuba tewali gwe nnali nkigambye.

Omusajja yalaba embeera etabuse n’agenda ewa bazadde bange n’abategeeza ekyaliwo era ne bategeeragana ne yeeyama okundabirira mu buli kimu. Ebyembi, baze omulimu gwamuggwaako nga takyalina ssente zituyimirizaawo era kwe kusalawo okuntwala mu kyalo e Mityana gye bamuzaala ate nga ndi lubuto.

Twatandika okubeera ne nnyazaala wange ne baze mu kyalo okutuusa lwe baamusaba adde e Kampala anoonye eky’okukola. Bwe nnamala okuzaala, buli kimu nnyazala wange ye yakimmaliranga kuba nali mu nnaku njereere.

Kuba wadde baze yali afunye omulimu, obuyambi yaweerezanga butono ddala. Nanalaba embeera ekalubye kwe kusalawo okudda ewaffe wadde nga waasooka kubaawo kusika muguwa nga tebaagala ηηende na mwana wange wadde era baamala ne bansinza amaanyi ne bamusigaza.

Nafuna omulimu e Kampala ne ntandika okukola wabula bwe nnafuna ku ssente okudda mu kyalo okutwalira omwana wange obuyambi, embeera gye namusangamu nga yennyamiza anti nga yazi- ηηama nga tafaananika.

Nayagala okumubabbako naye ne bannemesa wadde okumusemberera era waayita mbale omwana wange naafa. Nga tumaze okumuziika nga waakayita ennaku bbiri, nnyazaala wange yaηηaamba nti mu kika kyabwe omwaana asooka ow’obulenzi abeera alina okufa.

Nasalawo okwesonyiwa abantu bano ne nzira ewaffe nsobole okutandika obulamu obupya. Gye buvuddeko, waliwo omusajja omulala eyamperereza ne ndowooza nti ebyange biwedde naye nga mu bwenzi akwata kisooka.

Kino nagenda okukimanya nga mmaze n’okumuzaalira. Nnalaba naye siimusobole ne muviira ne nzira ewaffe. Kati eby’abasajja nsazeewo mbyesonyiwemu nkolerere omwana wange.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paapa Francis nga yaakatuuka  mu Iraq ku Lwokutaano.

Engeri Paapa gye yeesitudde...

PAAPA Francis ‘Baba al Vatican' (nga bwe bamuyita mu Iraq) ku bugenyi obwebyafaayo mu Iraq yasisinkanye n'omukulembeze...

Catherine Namaato baamusala Catherine okutu ng’ava okukola..

Abakuba obutayimbwa basitud...

BANNAKYOTERA beeraliikirivu olw'akabinja k'abanyazi akateega abantu nga bava okukola ne babakuba obutayimbwa ku...

Ssebwana Kiberu (ku ddyo) ng’akulembeddemu Bannabusiro okukola bulungi bwansi e Kajjansi.

Ssebwana akuutidde abavubuk...

OMWAMI wa Ssaabasajja atwala Essaza ly'e Busiro, Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza, akuutidde Abavubuka abaalondeddwa...

Abamu ku bavubuka abagambibwa okubbira ku bodaboda abakwatiddwa.

▶️ Akabinja k'aba bodabo...

AKABINJA k'ababodaboda ababbi katadde abasuubuzi mu Kampala ku bunkenke. Babbye ssente obuwumbi bubiri mu wiiki...

Omwami w’eggombolola y’e Ngogwe, Livingstone Kisekka (ali mu kyambalo okuli engabo) ng’alaga Omulangira Wasajja (mu ssuuti wakati)amakula ge baaleetedde Kabaka.

Wasajja ajjukiza Gavumenti ...

OMULANGIRA David Kintu Wasajja agambye nti Obwakabaka bwa Buganda bwennyamivu olwa gavumenti okuba nti ekyagaanye...